Amawulire

Twetaaga kukomawo waffe.

Oludda oluvuganya government  mu parliament luzudde  nti waliwo bannauganda abawerera ddala 329 abali mu Saudi Arabia, abetaaga okukomawo kuno wabula ng’ensimbi ezibakomyawo tebazirina.

Omuwendo guno gwemutongole ,minister w’oludda oluvuganya government mu parliament yakuno Nkunyingi Muwada gweyafunye okuva mu bitongole bya Saudi Arabia.

Bannauganda bano nga bonna bavubuka ng’era abasinga bawala, bakuumibwa mu bifo okuli Sakan mu kibuga Riyadh, Damam, Median ,Qas, Jeedah n’ebirala.

Omubaka Nkunyingi agambye waliwo bannauganda 102, government ya Saudi Arabia begenda okutikka ku nnyonyi ebazze ku kuno.

Okusinziira ku mubaka Nkunyingi ,waliwo bannauganda abalala 92 abaatabuka emitwe ,abalala balina embuto n’abalala balina abaana,  bano kikyali kizibu okukola ku mpapula zabwe ezibakomyawo kuno, olw’amateeka ga Saudi Arabia agakwata ku nsonga zabwe okuba amakakali.

Nkunyingi Muwada bwakomawo wakukola alipoota kweembyo byazudde,agyanjulire akulira oludda oluvuganya government Mathius Mpuuga Nsamba eyamusindise naye agyanjulire parliament etunule mu nsonga zabannansi bani.

Mu mwaka oguwedde ogwa 2022 bannauganda abali mu nkumi 3000 abaali mu mbeera yeemu baakomezebwawo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top