Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’emmwanyi ekya Uganda Coffee Development Authority kiggaddewo ebyuma ebikuba emmwanyi mu district ye Kayunga, olw’obutakuuma mutindo ekyeraliikirizza abasuubuzi.
Abasuubuzi abakakkalabiza mu district ye Kayunga abakulembeddwamu Sentebe wabwe era nga ye mumyuuka asooka owa Mugerere owek Hajji Bashiri Kawanguzi bagamba nti okuggalawo ebyuuma kizingamizza emirimu gyabwe nga kati tebalina webakubira mmwanyi okufunamu ensimbi ezegasa.
Bino byona babituseeko mulukiiko lwabwe olwetabiddwamu amakungu okuva mukitongole ekivunanyizibwa kumutindo gwe mmwanyi olutudde ku gombolola ye Kangulumira.
Beyamye okukuuma omutindo gw’emmwanyi nga batuukiriza ebyo ebyabagambibwa ekukolebwa singa ebyuuma biggulibwawo.
Tumwesigye Robert nga yavunanyizibwa ku byuma n’omutindo gw’emmwanyi mu kitongole kino agamba nti abasubuuzi babadde tebakyakuuma mutindo, ekiviriddeko akatale k’emmwanyi okugwa nga kati bagala abasuubuzi beetereeze ebyuma biryoke biggulwewo.
Okusinziira ku UCDF emmwanyi ez’omutindo nga zengedde bulungi, mu kiseera kino kilo ya kibooko egula wakati wa shs 3800 – 4300
Ezengedde nga zigiddwako ebikuta kilo wakati wa shs 7800 – 8200
Ekika kya Arabica kilo egula wakati wa shs 8500 -9500.