Amawulire

Uganda Airlines etongozza okusonda obukadde bwa siringi 350 bwa kuzimba mayumba g’abasamaliya abalungi Dhabangi ne Rebecca

Uganda Airlines etongozza okusonda obukadde bwa siringi 350 bwa kuzimba mayumba g’abasamaliya abalungi Dhabangi ne Rebecca

Bw’okolera abantu ebirungi, ofuna emikisa wamu n’okuddizibwa mu ngeri gy’otayinza kusuubira. Ekisinga obukulu, ssi kubeera na nsimbi nnyingi  wabula okubeera omugagga mu mutima.

Wilson Dhabangi ku myaka 74 egy’obukulu, ne Rebecca Mukyala kati bakungula birimba olw’okuba abasamamaliya abalungi. Bano nga n’amannya gaabwe gyebuvuddeko gabadde gayitiŋŋana ku mikutu mugattabantu oluvannyuma lwa Henry Mutebe okubakolera kyebabadde tebasuubira mu bulamu, okubabuusizaako mu nnyonyi ya Uganda Airlines n’ebabatwalako e Nirobi, Kenya.

Mutebe nga Mukwanaganya w’abayizi, mu Minisitule y’ekikula ky’abantu, bwe yanyumizaako abaali ku kibanjakye ku mukutu mugattabantu ogwa Fecebook, ng’abantu bano bwe bamuyamba ne bamubudaabuda obulungi oluvannyuma lw’okufiirwa kitaawe, nga maama we yakolanga obutaweera okusobola okubayimirizaawo ne bagandabe basatu.

Mu mboozi eyakwata ku bantu bangi, Mutebe yagamba nti kati ali mu kusonda ssente asobole okuzimbira Dhabangi ennyumba etemagana. Mu kuwuniikirira n’essanyu lya Mutebe, Uganda airlines yatongozza okusonda ssente, Doola 100,000 mu za Uganda nga obukadde 350 okuzimbira ababiri bano ennyumba.

Nambatya ono akola nga Maneja mu bwa kitunzi mu kkampuni ya Uganda airlines bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire ba Ssekanolya ng’asinziira ku ofiisi ya Kitunzi essangibwa  e Kampala ku luguudo lw’e Jinja, yeebazizza Mutebe okulondawo  okusaabaza abantu ababadde ab’omugaso mu bulamu bwe n’abasaabaliza mu Uganda Airlines.

“Kkampuni eno tekoma ku kusaabaza bantu kyokka wabula n’okukyusa obulamu bwabwe. Yensonga lwaki tukulembedemu mu kuzimbira Dhabangi ne Rebecca ennyumba”, Nambatya bwe yategeezezza era n’akubiriza abantu buligyo okuba n’emitima emirungi wamu n’okuyambanga bantu bannaffe abali mu bwetaavu.

Eno era yakubirizza Bannayuganda okulabira ku Mutebe, batwaleko abantu baabwe abababeereddewo, mubifo eby’enjawulo nga bakozesa Uganda Airlines.  “Jangu ku ofiisi zaffe oba tukyalire ku mukutu gwaffe ku mutimbagano osobole okuwuniikiriza abaagalwa bo ng’obatambuzaako ku miwendo egisoboka ate nga tufaayo ku bakkasitoma baffe,” Nambatya bwe yagambye. Yeebazizza Rebecca okuba ‘maama’ wa Mutebe.

“Abasinga tufaayo ku baana betuzadde bokka naye Dhabangi ne Rebecca baalabirira ne bebatazaala.” Bwatyo bweyagasseeko.

Bwe yabadde ayogera ku mukolo gw’okutongoza okusonda ensimbi, Mutebe yagambye nti yafuna amasimu agenjawulo okuva eri abantu ba wano n’ebunaayira, oluvannyuma lw’okubanyumizaako emboozi eno eyaleetera n’abamu okwoza ku munnye.

Agamba nti omusajja ono yali mwavu era ng’okusoma teyasomako, mukadde, kyokka mu myaka gye 50 yayambalanga obusapatu obukadde kuba teyalinanga ngatto, yalina kasaati kamu ng’agenda okukyalira Mutebe.

“Bayizi bannange ku ssomero baali bamumanyi nti ye Kitange era banjeeyanga nti kitaawo mukadde nga akagaali kaavuga. Ebiseera ebimu yaleetanga haafu kilo y’ebinyebwa ebyategekebwanga mukyawe, ate olumu yajjanga buzzi kwogerako nange. Omwami ono yaŋŋamba nti ssinga nsoma nnyo era ne mpuliriza abasomesa, nali wa kubuukira mu nnyonyi ntambuleko mu bifo ebyenjawulo nti era ssinga nsoma nemmalako, naye yali wa kufuna mukisa okubuukirako mu nnyonyi wadde nga teyasomako kale no, buli kiseera eky’okubuuka tekyamuvanga ku mumwa”. Bwatyo Mutebe bweyanyumizza.

Mutebe agamba nti okumala emyaka 25, abadde awulira ebbanja mu mutima lw’omukwano omwami ono gweyamulaga era n’ayagala akimukolere mu butakisuubira bwatyo omwaka oguwedde n’asonda ssente akikole.

Mutebe yeebazizza Uganda Airlines okubafaako obulungi mu lugendo lwabwe.

Dhabangi naye yebazizza Mutebe obutamwerabira era naye ne yeebaza ekitongole olw’okubalabirira obulungi mu lugendo lwabwe.

Dhabangi mufumbo ow’abaana 12 naye bano teebasoma kigenda wala olw’okuba nti taata teyalina nsimbi zimala kubaweerera wadde nga yalina emiti 100 ejamuyambangako mu by’ensimbi. Rebecca naye yeebazizza Mutebe ekirabo kye yabawadde.

“Nalabirira abaana bangi ddala abatali bange, naye abasinga tebaasiima. Neebaza Mutebe olw’omutima omulungi,” bwato Rebecca bweyagambye.

Okubaako konna k’oyagala okuwaayo mu kuzimbira Dhabangi ne Rebecca ennyumba, kozesa emikutu gino wammanga;

Ku MTN Nyiga *165*3# Merchant Code: 318487 Reference: BUILD oba Airtel Nyiga *185*9# Merchant Code: 1191804 Reference: BUILD.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top