Amawulire

Uganda Airlines kyaddaaki efunye olukusa okutandika okukozesa Airbus A330-800NEO

Amawulire gano gategeeza nti kaakano ennyonyi zino zisobola okuddamu okutambula eŋŋendo empanvu. Airline eteeseteese okutongoza eŋŋendo zaayo ezigenda e Dubai nga September yakayingira era nga balina n’enteekateeka okutandika okutuuka e London okusinziira ku akola nga CEO w’ekitongole kino.

Ekitongole ky’ennyonyi mugwanga kiraze wekituuse ku nkola y’emirimu.

omwogezi wekitongole kye nyonyi mugwanga (UCCA) VIANNEY MPUUGA LUGGYA

Entambula za Uganda Airlines mulimu 4 MHIRJ CRJ – 900 ekola okwetoloola ‘region’ eno nga yagaziyiziddwa okutuuka mu muwendo gwa 6 oluvannyuma lw’okuleeta Airbuss A330s bbiri (2)

A330 – 800NEO eyafulumiziddwa mugigi mupya nga guwagiddwa Rolls – Royce Tent 7000 engines eziri ku mulembe. Okusinziira ku Airbus, amafuta enywa kitono nnyo ku bitundu 25 ku 100 okusinga omugigi ogubaddewo.

Ennyonyi eno ey’abasaabaze erimu ebitanda 20 abagagga mwe batuula, erimu entebe 28 n’ebifo 210 abawejjere gye batuula omuwendo ne guba 258

Ng’oggyeeko ebyo byonna, A330-800 tebubadde buwanguzi eri abakola buzinesi eri Airbus. Airlines 4 mu nsi yonna ze zaatumya ekika ekyo nga mulimu Garuda Indonesia, Kuwait Airways ne Air Greenland ezeegasse ku Uganda Airlines.

ssenkulu wa uganda airline mukyala jennifer musiime

Uganda Airlines erina enteekateeka okugatta Uganda ku Mumbai, India ne Guangzhou, China nga bakozesa ennyonyi yaabwe empya A330 aircraft

Mwami Luggya ng’ono ye mwogezi w’ekitongole kya UCAA yayozaayozezza Uganda Airlines olw’okumaliriza okufuna olukusa lwa Airbus A330-800NE okugigatta kw’ezo ezibaddewo. Airline kaakati esobola okukozesa ennyonyi zino mu bintu ebivaamu ssente.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top