Amawulire

 Uganda eli munteekateeka  za kutandika kukola Drone.

President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven asisinkanyeemu bamusiga nsimbi okuva e Poland banyini kampuni ya Prometheus, abagala okutandika okukolera mu Uganda obummotoka obutono kika kya Drone obusobola okukozesebwa emirimu egyenjawulo.

Ensisinkano eno ebadde mu State House Entebbe.

Ssentebe wa kampuni eno Matiusz Lwanski ategezezza president Museven nti obummotoka buno busobola okukozesebwa mu by’okwerinda, eby’obulamu nga butambuza eddagala, n’okusaabaza eby’amaguzi okubituusa amangu gyebyeetaagisa.

Ensisiinkano eno yetabiddwamu omubaka Rosa Malango n’omuduumizi w’eggye lya UPDF Gen Wilson Mbadi Mbasu n’abakungu abalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top