Amawulire

Uganda eteereddwako akazito kuby’etteeka erirwanyisa ebisiyaga.

Ekibiina ky’amawanga amagatte United  Nations ,omukago gwa Bulaaya, government ya America neeya Canada gatadde akazito ku Uganda, olw’etteeka erirwanyisa obusiyazi, parliament lyeyayisizza.

Amawanga gano n’ebitongole birabudde government n’okusaba president Yoweri Kaguta Museveni obutateeka mukono ku bbago lino eririmu ebibonerezo ebikakali eri abantu abeenyigira mu muzze gw’obusiyazi.

European Union mu kiwandiiko kyeguyisizza gulabudde nti etteeka eryayisiddwa lityoboola eddembe lyobuntu.

Omukago gwa Bulaaya gugambye nti etteeka eryayisiddwa lisaawo ekinonerezo ky’okuttibwa songa omukago guno guwakanyiza ddala ekinonerezo ky’okuttibwa n’akalabba.

Ssabaminisita wa Canada Justin Trudeau tabadde nabiganbo biwoomu eri parliament ya Uganda, agambye nti etteeka eryayisiddwa lyabulabe nnyo eri obulamu bw’abantu abakkiririza mu bufumbo obwekikula ekimu ,era asabye parliament ya Uganda eddemu eryetegereze.

Ekibiina ky’amawanga amagatte ki United Nations nakyo kivumiridde etteeka lino eryayisiddwa nti tteeka lityoboola eddembe ly’obuntu.

Ssenkulu wa UN Human Rights commission Volker Turk asabye omukulembeze w’eggwanga obutateeka Mukono ku tteeka lino.

Government ya America nayo ng’eyita mu minister waayo ow’ensonga z’amawanga amalala Anthony Blinken alabudde ku tteeka lino nti lyolekedde okugotaanya enteekateeka y’okulwanyisa mukenenya mu Uganda.

Government ya America yesinga okuvugirira enteekateeka yokulwanyisa akawuka ka mukenenya wano mu Uganda, n’okulabirira abalina akawuka kano okuyita mu kitongole ki USAID.

Okulabula mwa government z’amawanga ga bazungu abasinga okuvugirira embalirira ya Uganda kutadde governmeny mu kattu, wabula nga kati president Museven y’alindiriddwa omussa omukono ku tteeka ljno litandike okukola.

Kinajjukirwa nti mu mwaka 2013, parliament bweyayisa ebbago lyerimu omukulembeze weggwanga naalisaako omukono ,amawanga agawerako gaasazaamu obuyambi n’obuvugirizi bwegaali gawa Uganda, era government ebiseera ebyo yeesanga mu kusoomozebwa okutagambika okufuna ensimbi eziddukanya eggwanga.

Government ku mbalirira y’eggwanga eyawamu esobola kuwanirirako makati gaayo, ensimbi endala ziva mu bagabirizi bobuyambi n’okwewola okuva mu mawanga g’ebweru.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top