Amawulire

Uganda tekyalina bakulembezze ba LC1.

Ekibiina kya FDC kisabye akakiiko k’eby’okulonda okwanguwa okutegeka okulonda kwa bassentebe b’ebyalo kisobozese emirimu okutambula obulungi.

Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi ku Mmande, John Kikonyogo amyuuka omwogezi wa FDC, yategezezza nti omuntu bw’abeera asaba okweyimirirwa mu kkooti alina okutwala ebbaluwa ya LC nga emukakasa nga bwali omutuuze ku kyalo nga bw’aba tagirina eddembe ly’okweyimirirwa libeera terimuweebwa.

Yasabye gavumenti n’akakiiko k’ebyokulonda okutegekawo okulonda kuno mu bwangu Bannayuganda basobole okwanguyibwa mu kkooti nga n’abalamuzi basaana okutegezebwa waakiri endagamuntu n’ebeera nga yeekozesebwa ng’ ebbaluwa ya LC.

Yayongedde n’ategeeza nti mu kiseera kino empapula z’okutunda wamu n’okugula ettaka zibeera zeetaaga sitampu ya LC, ekisanja kya ofiisi bw’ekiba nga kyaweddeko ababbi b’ettaka baba baakukozesa akakodyo kano okubbako abantu ettaka lyabwe nga bakozesa olukujjukujju olw’okuba ekisanja kya basentebe ababateerako sitampu kyagwaako.

Kikonyogo era mu kwogerako ne bannamawulire yavumiridde akalulu ka Oyam akaddiddwamu okulondebwa n’agamba nti kabadde kajuddemu okutulugunya bannakibuiina kya FDC ng’ ate tekabadde ka mazima na bwenkanya.

Yagambye nti poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe byakozesezza eryanyi erisukkiridde nga batulugunya abantu baabwe ate abalala ne babaggya mu wooteri gye babadde basula ne babaggalira mu buduukulu bwa poliisi obw’enjawulo.

Ono era yennyamidde olw’abantu baabulijjo abataabadde mu yunifoomu za poliisi okubawa ebiragiro ekyabadde kinyigiriza abooludda oluvuganya gavumenti.

Yasabye pulezidenti Museveni okubaako ne kyakola okulaba ng’ekibba bululu kikendeezebwa kubanga kino kye kimu ku byamutwala mu nsiko .

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top