Amawulire

UHRC erabudde kooti y’amagye ku ky’okuwozesa abantu ba bulijjo.

Akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka Human Rights Commission Mariam Wangadya awandiikidde kooti y’amagye ne Ssaabawaabi w’emisango gya government Jane Francis Abodo, okulagira kooti y’amagye okulekeraawo okuwozesa abantu ba bulijjo mu kooti z’amagye.

Gyebuvuddeko kooti etaputa ssemateeka yayimiriza kooti y’amagye obutaddamu kuwozesa bantu babulijjo mu kooti ya magye, nti kuba kityoboola ssemateeka.

Mariam Wangadya watuukidde okuwandiikira abakulu nga kooti y’amagye ekyagenda mu maaso n’okuwozesa abantu babulijjo mu kooti eyo, nga waliwo n’ omuwagizi we kibiina Kya NUP Agamba Anthony amanyiddwa nga Bobi young abadde yakasembayo okuvunaanibwa mu kooti eno.

Akulira akakiiko ke’ddembelyo Mariam Wangadya agamba nti kooti ya magye eyitiridde okutyobola ebiragiro by’esiga eddamuzi

Eyaliko president w’ekibiina ekitaba bannamateeka ekya Uganda Law Society Phiona Nabaasa Wall agamba nti  Parliament yesigadde okutaasa bannauganda ku embeera eno, nti kuba bbo nga banamateeka boogedde naye kooti y’amagye erabika eganye okuwulira.

Wabula Ssaabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka agambye nti baajulira dda ku nsala ya kooti eyimiriza kooti y’amagye okuwozesa abantu ba bulijjo, era nga wano webakyasibidde.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top