Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examination Board kifunye okweyongera kw’omuwendo gw’abagenda okutuula ebigezo ebyakamalirizo ebya 2023.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Uganda Media Center, mu kampala, Dayirekita w’ekitongole kya Uneb, Daniel Odongo agamba nti wabadewo okweyongera kwa abayizi omutalo gumu mu2,690 ku mutendera gwa Uganda Certificate of education, okuva ku mitwalo 9 mu 7,889 abakola omwaka oguwedde okutuuka ku ku bayizi emitwalo 11 mu 0,579 abagenda okutuula omwaka guno.
Ate ku mutendera gwa Uganda Advanced Certificate of Education, abayizi beeyongedde abagenda okukola ebigezo okuva ku mitwalo 34mu 9,433 okutuuka ku mitwalo 36 mu 4,421
Wabula waliwo okukendeera kw’abayizi abagenda okukola ebigezo bya p7 okuva ku mitwalo 83 mu 2,809 abakola omwaka oguwedde okutuuka ku mitwalo 74 mu 9,371 abewandiisa omwaka guno.
Kino akitadde ku kubalukawo kwekirwadde kya ssenyiga omukambwe ekyawalirizza abazadde okubuusa abayizi ebibiina
Abayizi akakadde 1, ne mitwalo 22 mu 4,371 be beewandiisizza ku mitendera gyonna esatu egy’ebigezo eby’akamalirizo, okuva mu bifo 20,921.