Ssaabawandiisi wa UNEB Dan Odongo yafulumizza ekiwandiiko ng’alabula abakulu b’amasomero n’abatandiisi baago okwewala abafere abaabadde batandise okubakubira amasimu ku by’ebigezo bya PLE. Yagambye nti abafere bano babadde babagamba nti be bali mu sisitimu ya UNEB nga singa babawa ssente, balina obusobozi okubakyusiza obubonero bw’abayizi baabwe oba okusiimuula amannya g’amasomero ag’ebigezo ebyakwatiddw baleme kulangirirwa kuswala eri ensi yonna! Odongo abalabudde nti sisitimu ya UNEB temala gatuukikako bantu ba ngeri eyo, ate ng’ekitongole ekyateekebwamu Gavumenti obwesigwe, kirina enkola ennuggamu ez’ekyama ebyava mu bigezo gye bikuggaanyizibwa n’okuterekebwa awatayinza kutuuka bayaaye nga bano abakuba amasimu, n’abasaba balye kamanye, ng’akoza n’owebbwa.
UNEB erabudde abaamasomero ku bafere.
By
Posted on