Amawulire

UNRA ekkirizza emmotoka ennene okuddamu okuyita ku lutindo Katonga.

 

Olutindo lw’omugga Katonga luzeemu okuyitako emmotoka ennene, oluvannyuma lw’emyezi 6 n’ekitundu nga tezikkirizibwa.

Olutindo luno lwagwamu nga 26 May,2023, olw’omugga Katonga okubooga neguwaguza.

Emmotoka eziva e Kampala okudda e Masaka n’ebitundu ebirala ebiriraanyeewo, n’amawanga nga Tanzania,Rwanda ne Burundi zeyoongerako olugendo, nezitandika okuyita ku luguudo oluyita e Mpigi-Gomba-Ssembabule – VillaMaria.

Oluvannyuma lw’emyezi 3 government yamaliriza okuluddaabiriza era n’ekkiriza emmotoka entono okuluyitako.

Emmotoka ennene okuli Lukululana ne loole zibadde zikyayita Gomba okumala emyezi 6 n’ekitundu, okutuusa leero nga 15 December, 2023 lwezikkiriziddwa okutaddamu okuyita ku lutindo lwa Katonga.

Okusinziira ku mwogezi w’ekitongole ky’enguudo ekya Uganda National Roads Authority Allan Ssempeebwa, wadde nga olutindo luno balukoze okusobozesa emmotoka ennene okuyitako, nti naye entegeka z’okuzimba olutindo luno olw’omulembe zigenda mu maaso.

Ssempeebwa agambye nti olutindo lugenda kuwanikibwa mu bbanga, nga singa omugga guddamu okubooga gabeere nga tegasobola kuddamu kumosa luguudo.

Ba dereeva ba lukululana bagamba nti bakoseddwa nnyo nga bayita e Gomba, gyebagamba nti babadde bekooloobya nnyo, nga bakozesa obudde bunfi mu kkubo, okwonoona emipiira gy’emmotoka n’obubenje olw’okuyita ku luguudo lwebaali tebamanyidde, saako abantu b’ebitundu ebyo abaali tebamanyidde mmotoka nnyingi ku luguudo olwo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top