Amawulire

UPE agyibwe mu Kampala .

Olukiiko lwa Lord Mayor wa Kampala lwagala enkola ya UPE egyibwe mu Kibuga Kampala, government bweba tesobola kuweza buwumbi 100 obuweebwa KCCA okukola ku byenjigiriza mu Kampala.

Lord mayor wa Kampala Ssalongo Eras Lukwago abadde ayogerera mu Lukungana lwa bannamawulire olutudde ku City Hall, n’agamba nti amasomero ga KCCA mu Kampala gakoledde ddala bubi.

Ku masomero 2221 agali mu Kampala, KCCA erinako amasomero 79 kyokka nga gano abayizi abatula ebigezo bali 38,105.

Abaayitidde mu ddaala erisooka bali 12,896,eddaala eryokubiri bali 1742, Eddaala eryo 3 bali abayizi 3451,eddaala. 4, Bali abayizi 2,456,Abaagudde n’enkoona n’enywa bali 1333.

Abaakolako ebibuzo nebatabimalayo bali 597.

Abaayitira mu ddaala erisooka tewali yafuna bubonero 4 nga abafuna 5 bali 2 bokka.

Lukwago agamba nti ekivirako amasomero ga Kampala obutakola bulunji ye government okusuula obuvunanyizibwayo bwayo obuteeka ssente ezimala mubyenjigiriza.

Lukwago asinzidde wano nasaba enkola eya UPE egyibwe mu Kampala, nti kubanga eringa eyatekebwawo okugumaaza abazadde wamu nokwonona ebyenjigiriza mu Kampala olwessente ezitebwamu entono ezitasobola kumala kusitula mutindo gwabyanjigiriza.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top