Amawulire

 Ven. Canon Moses Banja alidde obwe Namirembe.

 

Okusinzira ku Balaam Muheebwa, akola ng’omuwandiisi, ‘House of Bishops’ eronze Banja mu lusirika olubadde  ku St Stephen’s Cathedral Naluwerere mu East Busoga Diocese enkya ya leero.

Agenda kutuuzibwa mu ntebe nga 10, December, 2023 ku St Paul’s Cathedral, Namirembe.

Banja okuva mu 1996 abadde mubuulizi wa njiri.

Alina Diguli mu by’eddiini okuva ku Yunivasite e Makerere

Alina Dipulooma mu busomesa okuva e Makerere

Ven Canon Moses Banja, yazaalibwa nga 20th, October, 1964 ku kyalo Nakabugo Bbira e Busiro.

Yakkiriza Yesu nga 3, December, 1989.

Alina omukyala Rev. Canon. Prof. Olivia Nassaka Banja

Balina abaana basatu (3).

Mu kiseera kino, abadde Archdeacon we Luzira mu bulabirizi bw’e Namirembe.

Alina emyaka 59.

Alondeddwa okudda mu bigere bya Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira abadde omulabirizi w’e Namirembe emyaka 15.

Luwalira abadde omulabirizi ow’okutaano (5) nga yatuuzibwa mu ntebe mu May, 2009.

Luwalira agenda kuwumula mu butongole nga 8, December, 2023 oluvanyuma lw’okuweza emyaka 65 egy’okuwumula.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top