Amawulire

Wuuno omuyimbi asibiddwa lwa butemu.

 

Omuyimbi MHD asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 12 ku misango gy’okutta omusajja mu Paris mu ggwanga lya Bufalansa mu 2018.

Kkooti egamba nti mu 2018, Mohamed Sylla amanyikiddwa nga MHD yeenyigira mu kutta Loic K myaka 23.

Loic K yatomerwa emmotoka ya MHD ekika kya Mercedes, kyokka oluvanyuma yafumitibwa n’okubwa abantu abasukka 12, okutuusa lwe yafa.

Wadde mu kkooti, Omuyimbi MHD yegaanye emisango gyonna ng’agamba nti teyali mu kifo Loic K webamuttira.

Kkooti okusingisa MHD emisango, yasobodde n’okweyambisa obutambi obwakwatibwa abatuuze nga basinzira mu nnyumba zaabwe.

Abantu abalala 5 abasingisiddwa emisango ne MHD, baasindikiddwa mu kkomera wakati w’emyaka 10-18 ate 3 bagiddwako emisango.

Ate okutya kweyongedde mu ggwanga erya Kenya, olw’ekiragiro kya Minisita w’ensonga z’ebyokwerinda Kithure Kindiki.

Minisita Kindiki yalagidde Poliisi okuba amasasi okutta abantu bonna abegumbulidde okulumbagana abasirikale nga bakola emirimu gyabwe n’okusingira ddala mu bukiikakono bwa Kenya mu bitundu bye Rift Valley ku nsalo ya South Sudan.

Mu bitundu ebyo, abantu bangi battiddwa bamukwatammundu nga ne wiiki eno, abantu 5 bakubiddwa amasasi ne battibwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top