Henry matovu Dalton abeera ku kyalo Kirinda Misaali Masaka mu Buddu.
Yasomera ku light junior primary school Kikoto e Kalungu
Bweyamala yegatta ku light secondary School kitoma e Kalungu gyeyamalira S.4 mu 2004.
Yegatta ku ttendekero lyábasomesa ba primary erya Kabukunge PTC bweyamaliriza mu 2007.
Matovu agamba nti mu 2011 amaaso gaatandikiriza mpola okumusiiwa nékyaddirira kwali kuzibira ddala, nábeera nga takyalaba.
Yagenda mu malwaliro gámaaso nebamukeberako wabula teyafunawo njawulo kati emyaka 12 tamanyi nsi bwefaanana.
Embeera eno eyókuziba amaaso yamulemesa okugenda mu maaso nómulimu gwe ogwókukwata ennoni okusomesa abayizi, wabula teyeetuulako, yasalawo okutandika okuyiiya ennyimba zámasomero, n’okutenda abaana okuyimba n’okukuba ebivuga.
Henry Matovu Dalton agamba nti amasomero agabeera gasiimye okumupatana gamusasulayo akasente akatonotono, akamuyamba okubeerawo.
Mu biseera ebyóluwummula akunganya abaana bókukyalo nábatendeka okukuba ennanga, abazadde bwebasiima nebamuwaayo akasiimo konna kebabeera bagadde.
Abayizi bwebaddayo ku masomero, Matovu agamba nti embeera lwesiinga okumukaluubirira, nti kubanga abaana baatendeka bamumalako ekiwuubaalo mu luwummula ate nókufunayo akasente akamubezaawo okuva mu bazadde babwe.
Asaba abazira kisa bamudduukirire ayongere okufuna ebivuga ebirala, okugaziya omulimu gwe abeere ngásobola okutendeka abavubuka abalala.
Mu kiseera kino alina ennanga emu gyátendekerako abaana.