Babitaddemu olutalo lwa LOP ne ssente za Sipiika Among.
Omubaka wa Mityana Municipality,Francis Butebi Zaake eyakakuba embaga makeke asattira oluvanyuma lw’okutandika okufuna obubaka ku ssimu ye nga bumutiisatiisa nga bwe bagenda okumutuusaako obulabe olwokukasuka ssente ezaamuweebwa ku mukolo gw’embaga.
Aron Kizza ,nga ye munnamateeka wa Zaake,agambye nti yawadde omuntu we amagezi ensoga zino okuziwaaba ku bannayini ssimu ezimuweereza obubaka bw’okumutta.
Zaake yakasuka ebbaasa omwali ekirabo ky’obukadde 10 obwali bumuweereddwa sipiika wa palamenti Annet Anita Among, kitaawe omugagga Emmanuel Butebi n’azironda n’azeetwalira.
Ssaabawolereza w’oludda oluvuganya mu gavumenti eyeekisiikirize omubaka Winfred Nuwagaba yabuulira nti obukadde 10 famire ya Zaake teyazzizzayo ewa sipiika zonna baazirya.
MULIMU ENTALO Z’EKIFO KYA MPUUGA: Ensonda mu NUP zitubuulidde nti Zaake alina entalo nyingi mu kibiina kya NUP.Waliwo babaka banne mu palamenti ng’an’omu ava Busiro b’attunka nabo ku kifo ky’okukulira oludda oluvuganya mu palamenti mu kiseera kino ekirimu omubaka wa Kyendo Mukungwe ,Mathis Mpuuga Nsamba.
MPUUGA AKEESA LUKYA: Ensonda mu NUP zitubuulidde nti Mpuuga alina emikisa mitono era akeesa lukya nga nkoko ya mutamiivu ku kifo ekyo,Bobi Wine ayinza obutaddamu kumulonda kukulira ludda luvuganya singa emyaka ebiri n’ekitundu gyalina okumala mu kifo ekyo giggwako Ensonda zitegeezezza nti Zaake okukasuka ssente za sipiika yali ayagala kugula buganzi wa Bobi Wine atayagalira ddala sipiika Among gw’alumiriza okuwaggula ababaka ba NUP ng’abawa ssente n’engendo okugenda wa bweru w’eggwanga ekibaleetera okumuyisaamu amaaso.
Bano bategeezezza nti Bobi Wine yanyigira nyo Zaake bwe yalaba ekifaananyi ng’agudde Among mu kifuba bwe baali bayigga akaluly k’obwasipiika ate nga yali yaakamugoba ku bwakamisona bwa palamenti olwokumuwemulira ku sosolo midiya.
Ofiisi y’akulira oludda oluvuganya yeenkanankana n’eya ssaabaminisita wa gavumenti eri mu buyinza.Omwaka eteekebwamu sente ezisoba mu buwumbi 4.Kuno kubeerako ez’enyambula,ensako n’obukuumi nga ababaka mu NUP ze zaagala okubattisa.Zaake azze akwatibwa enfunda nyingi oluvanyuma lw’okufuna obutakkanya n’abebyokwelinda ng’emirundi gyonna gy’akwatiddwa e magombe abadde asimbayo kitooke.