Aba Mobile World Congress bwe baabadde mu mwolese gw’ensi yonna ogwabadde mu Barcelona ku kkolero ly’amasimu bagambye nti bakoze kinene okulaba nga bagazya akatale.
Bwe yabadde ayogerera mu lukungaana luno. Ryan Ding pulezidenti wa Carrier Business group, Huawei yanokoddeyo enkola ya 5G era nga be bakulembedde mu nkola eno etandise okujjumbira ku katale naye n’agamba nti wakyaliwo omukisa okwongera okuddaabiriza.
Ding yagambye nti tekinologiya wa 5G mu China ne South Korea okunoonyereza kwa Huawei kulaga nti edduka eirundi amakumi abiri okusinga eyo eya 4G era nga kati erina abantu abasukka mu bukadde 390 mu katale.
Ding agamba nti wakati wa 2021 ne 2025 bajja kuba bagasse tekinologiya ne 5G okukuza ebyenfuna bya Euro akatabalika kamu n’obutundu mwenda e China ne Euro obuwumbi kikumi asatu e South Korea.
“Tukyayagala okukuza enkola ya 5G n’okukolagana n’emikutu gy’empuliziganya okudda kun kola ya 5G” bwatyo bwe yagambye. “Enkola eno eya 5G ekyagenda mu maaso kubanga etandika butandisi”
Yang Chaobin pulezidenti wa Huawei yagambye nti bakyalina okuwanirira enkola eno eya 5G okugibunyisa mu nsi yonna buli muntu asobole okugifuna.
Enkola ya Huawei eya 5G awangudde ebirabo bingi omuli ekya ‘Best mobile Network Infrastructure’ eyaweebwa Global