Amawulire

RDC aweze okusiba anakwatibwa ng’agaba ebya Covid nga tayise mu mateeka

RDC wa Kira Municipalite Isaac Kawonawo awezze nga bwagenda okusiba oyo yena anakwatibwa nga agaba emmere , ssente n’enintu byonna ebikozesa okulwanyisa Covid nga tayise mu mumateeeka nagamba nti balina kubitwala mu ofiisi ya tawuni kiraaka kubanga ye muwanika wa task force.

Alabudde banna byabufuzi abagenda okweyambisa omukisa guno bakungaanye abantu mu bibinja nti babagabira mmere nti gwanakwatako agenda kumusiba kubanga lwakumenya biragiro bya Covid ekiyiza okuvirako abangu okukwatibwa ekirwadde  kya Coronavirus.
Asabye ebitongole n’abantu sekinoomu okubaako n’obuyambi bwebaleta bwebanawa abantu abali mu mbeera embi nga balina kuleeta bintu bikalu sosi ssente okumalawo obutali bw’enkanya n’ebigambo nti bakulu abalidde ssente.
Benon Yiga town Clerk  wa Kira Munisipalite agambye nti bataddewo obukadde 10  okuyambako abantu abanasangibwa nga bakwatiddw ekirwadde kya Covid , nti ssente zino zigenda kubayambako mu by’okulya n’amalwaliro  nga bwebalinda ssente gavumenti zeyasubizza okugabira abantu abali mu mbeera mbi
Emmaulel Katumba eyavuganya ku kifo ky’omubaka wa Kira Munisipalte ekyawangulwa Ibrahim Ssemujju Nganda owa FDC asabye aba task Force  okutukilira abantu abanene abalina abasobola okubaako nekyebaddukilira abali mu mbeera embi mu kiseera kino eky’omugalo nga bwebakikola ku mugalo ogwasooka mwebafunira ebintu ebyawerako  ebyabayamba ennyo okuddukilira abantu
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top