Ebyobufuzi

Lwaki Ssegirinya ne Ssewanyana babayingiza mu bijambiya , Sisobola wadde okusala enkonko – Ssegirinya

Lwaki Ssegirinya ne Ssewanyana babayingiza mu bijambiya

Oluvannyuma lw’e kitongole ekinonyereza ku misango e Masaka okuyita ababaka ba palamenti okuli Muhammad  Ssegirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanya owa Makindye East okweyanjula leero ku Monday banyonyole ku nsonga z’ebijambiya ebifuuse ensonga mu bitundu by’e Masaka abantu abasoba mu 30 abatiddwa olw’okutemwatemwa  kati securite egamba nti ababaka bano  balina kye bamanyi ku nsonga eno

Kyokka omubaka Ssegirinya asekeredde poliisi nti ensonga y’ebijambiya wetukidde abadde tali mu gwanga abadde mu ggwanga lya Netherlands gyeyagenda okusakkira abantu be ebintu  okubayamba mu mbeera gyebalimu enzibu  era enasonga abadde azilabira ku mikuttu gya Sociala Media kyokka nti yewunyiza okumuyingiza musonga zino kubanga ye musajja atya nnyo okuyiwa omusaayi era tasobola wadde okusala enkonko nga tayinza kwetaba mu bikolwa byakuyiwa musaayi.

Ayongeddeko nti tasobola kugyemere biragiro bya poliisi agyakugenda yeyanjule amanye ensonga eyamuyingiza mu nsonga z’ebijambiya byatamanyi  gyebyatandikira .

Bino webijjidde ng’akabonda ka babaka abava mu Buganda bagezeeko mu bitundu by’e Masaka okunonyereza ku bijambiya bino era omubaka wa  Nyendo Mukungwe era nga yakilira oludda oluganya gavumenti mu palamenti  Mathias Mpuga ayambalidde poliisi esonga z’ebijambiya bino okuziyinzaamu banna byabuguzi naddala abali ku ludda oluvuganya  nagamba nti eno enkola nkyamu okunonyereza poliisi kweyakoze okuzuula abali emabega w’ebikjambiya ate nekuyinguzaamu eby’obufuzi kikyamu kubanga bonna abayigeddwako bali ku ludda lumu nasaba poliisieddemu yetegereza nti kino kyeyakoze kiyinza okuleeta obuzibu mu ggwanga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top