Ebyobufuzi

Olutalo Lwa Col Kaka Ne Ba’Mafia Lusajuse, babiyingizamu ebijambiya

Olutalo Lwa Col Kaka Ne Ba'Mafia Lusajuse, babiyingizamu ebijambiya

Eyali akulira ekitongole ekikettera munda mu gwanga ekya Interanal Security Organisation (ISO) Col. Frank Kaka Bagyenda atabukidde abatandise okumuwayiriza nga bamussa muttemu lye bijambiya eribadde e Masaka, n’ategeeza nga bwe bwe bennonyeza ebyabwe awamu n’okulimbalimba pulezidenti Museveni basobole okwefunira sente nga belimbise mu kunonyereza okutagenda kuvaamu makulu.

Gyebuvuddeko eyali musajja wa kaka Paddy Sserunjojji (Sobi) yasisinkanye abamu kuba General mu magye ku Sheraton hotel mu Kampala era ne bogera bingi. Munsisinkano Eno, Sobi yatabukira nnyo Kaka okupapa okuddukira mu mawulire ate n’okumwononera erinnya. Oluvannyuma lwensisinkano eno, Sobi yayongeddeako obukuumi era ne yeyama okulaba ng’akolagana n’ebitongole ebikuumaddrmbe okulaba nga bakwata abo bonna abenyigira mu bijambiya bye Masaka.

Oluvannyuma lwensisunkano eno, akulire ekitongole Kya CMI Maj.Gen.Abel Kandiho okulagira basajja be okugenda okwaza ffaamu n’amaka ga Kaka agali ku kizinga kye Kalangala.

Col. Kaka yatabukidde ekitongole kya CMI n’agamba nti kijjuddemu bamafiya, abagala okumussa kuttemu lye masaka, n’agamba nti ebyo byonna bye bakola abimanyi era abiraba nga katemba atasobola kumutisatisa.

Kaka era yewuunyizza okulaba ng’abantu beyayamba omuli ne Sobi, gwe Bali bagala okutta n’amubudamya mu makage ate bamwefulira ne bakwatagana ne bamafiya nga Kati bebakozesa okumukonjera mubintu byatamanyi.

Ono era yategezezza nga bwe yewunya nnyo okulaba ng’abantu abeyita abalwanirizi be ddembe omuli ne Andrew Mwenda tebaasobola kulinnyako masaka kulwanirira ddembe ly’abantu abali batibbwa, kyokka nga Kati be bamulwanyisa nga belimbika mu kulwanirira eddembe ly’obuntu.

Kaka yagamba nti okukwatibwa kw’ababaka Alan Ssewannyana ne Muhammed Sseggirinya bwe kulimu eby’obufuzi, sso ssi bijambiya nga bwe babawayiriza nti era n’ebitongole ebikuumaddembe bikimanyi bulungi. Ensonga eno, yavirako minista owebyomunda mu gwanga Maj.Gen.Kahinda Otafire okumulumba n’agamba nti,  waddembe okwogera byonna byayagala nga ssemateeka bwamuwa eddembe, naye agume n’ebizibu bye kuba guluma yaguzza.

Kaka wayogeredde bino ngebigambo biyitingana ngentalo zokulwanira obuganzi ewa Pulezidenti Museveni n’abanene mu maggye ne NRM mu kawefube wokwesetinga okulaba ani Pulezidenti addako zikwajja.

Waliwo ebigambibwa nti nga Col Kaka bwe yalwana banne mu CMI ne poliisi omwali ne Gen Kale Kayihura nti naye bwe batandise okumuvuga sipiidi era Abangu bagamba nti akyayinza nokusibwa.

Bino byonna ensonda zigamba nti birimu ebyobufuzi eby’omunda ebigendereddwamu nokukuba aba NUP ne mukama wabwe tteke nebigendererwa byokumugya ku mulamwa gwokwesimbawo okuvuganya mu 2026 ne 2031.

Amawulire agomunda gagamba nti Pulezidenti Museveni akyabala gaapu alabe oba akomawo mu 2026 oba okulekera agambibwa okuba omusikawe ng’ono omukulu Balamu yasinga okumutembeeta.

Balamu okumala ebbanga azze alaga nti bateekwa okuleeta Lt Gen Muhoozi Kainerugaba okukulembeera uganda ekimuteeka mu kakuubagano akanene ne  Bobi Wine owa NUP.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top