Ppookino akubirizza bannamasaka okwaniriza enkulaakulana mu by’enfuna MTN bweyabadde eyigirizza bannamasaka engeri y’okwenyigira mu by’emigabo gyayo.
Levis Sempiira eyakiikiridde Ppookino yeebaziza MTN owl’obuwagizi n’enkolagana gyebayina n’Obwakabaka bwa Buganda, okukubiriza bannamasaka okwetwalira omukisa mu by’enfuna okusobola okujja ffamire zaabwe mu bwavu.
“Enkulaakulana bw’ejja mu kitundu, tujjaaniriza era tugiwa ekitiibwa. Mwebale nnyo okutalaaga nga musomessa bannabuddu ne Masaka okutwaliza awamu ku migabo gya MTN n’engeri ffena gye tusobola okugyenyigiramu,” bw’atyo bwe yategeezezza.
Steven assimwe resident city commissioner naye yeebazizza MTN olw’okuwa bannayuganda omukisa okufuna emigabo mu company yaabwe.
Bino baabyogeredde Masaka mu kizimbe kya town hall mwe baabadde bakubiririza bannamasaka okwettanira okufuna emigabo mu kkampuni esinga obunene mu by’empuliziganya.
Enkuŋŋaana ezeefaananyirizaako nga luno zibadde zigenda mu maaso mu bitundu bye Jjinja, Mityana, Lyantonde, Apac, Lugazi, Mukono, Gulu, Kamuli, Mbarara, ne FortPortal.
Ekigendererwa kya MTN okutwala omusomo guno mu bantu kiddiridde okulangirira kwe yakola n’ekigendererwa eky’okuwayo emigabo ebitundu 20 ku 100 eri ba kasitoma baayo oluvannyuma lw’okukakasibwa ekitongole kya capital markets authority. Omukisa guno gwatandika nga 11/10/2021 era nga gujja ku komekkerezebwa nga 22/11/2021.
Joseph Bogera kitunzi mu kkampuni ya MTN bwe yabadde ayogera eri bannamasaka ku Brovad hotel yabeebaziza olw’okwaniriza MTN mu kitundu n’abasaba okwettanira okufuna emigabo bafuuke kitundu ku kkampuni eno.
Ab’e Bunyoro bakubirizza abantu baabwe okugula emigabo mu MTN.
Abakulembeze mu bwakabaka bw’e Bunyoro bakubirizza abantu baabwe okufuna emigabo mu MTN mu lukuŋŋaana olwategekeddwa abakuu mu MTN abakwasaganya eby’emigabo.
Robert Owagonza ono nga ye minisita w’eby’ensimbi mu Bwakabaka bw’e Bunyoro eyakiikiridde katuukiro yayanirizza enkola ya MTN okukirizza abantu aba bulijjo okufuna emigabo mu kkampuni ya MTN esinga ensala zonna.
MTN Uganda yakiikiridwa Nicholas Beijuka ne Ibrahim Ssenyonga nga bali wamu ne ba bulooka baasomesezza abantu mu bitundu eby’enjawulo e Hoima ku ky’emigabo.
Ab’e Gulu nabo baanirizza emigabo gya MTN.
N’olunaku olw’okubiri namungi w’omuntu mu kibuga ky’e Gulu ajjumbidde omusomo ku kikwatagana n’emigabo mu MTN. Omusomo guno gugenda kwetoloola ebitundu by’e Kitugumu ne Adjumani oluvannyuma beyongereyo mu bitundu by’e Nebi, Arua, Koboko ne Moyo.
Enid Edroma ono nga y’omu ku ba “general manager” ba MTN yagambye nti abantu okujjumbira mu bungi okusomesa kuno kwebaliko kabayambyeko okubamanyisa n’okusobola okwenyigira obutereevu mu kkampuni eno gye bawagidde okusukka emyaka 23.
Yayongedde n’ategeeza abantu nti kkampeyini y’okusomesa abantu, egendereddwamu kwagazisa bantu ba wansi nabo okwenyigira mu mukisa gw’okwefunira ku bwa nnanyini mu kkampuni gaggadde ey’ebyempuliziganya ne Mobile Money nga ebawa okumanya ku kyonna ekyetaagisa nabo okusobola okwenyigira mu mukisa guno MTN gwe yassaawo ate nga baba basitula obutale bw’emigabo mu Uganda.
Okugula emigabo mu MTN kuviira ddala ku nnusu 200 eri buli mugabo ekitegeeza nti omuntu yenna asobola okwefunira emigabo okuviira ddala ku nnusu 100,000.
Omuntu yenna asobola ogwegulira emigabo nga akozesa essimuye. Kkasitoma wa MTN asobola okunyiga *165*65# ku ssimuye n’asooka okuggulawo SCD akawunti olwo n’asaba emigabo.