Tekinologiya

MTN Pulse ne FUZU bakoze omukago, bayambye abavubuka

MTN Pulse ne FUZU bakoze omukago, bayambye abavubuka

MTN eyingidde omukago ne FUZU, omukutu ku mutimbagano ogukyasinze okufunira abavubuka emirimu mu buvanjuba bwa Africa. Kino kiddiridde MTN Pulse okusomesa omuvubuka okumanya obusobozi bwe anti omuvubuka yakutte omumuli gw’enkulaakulana.

Mu mukago guno, abakozesa omukutu gwa MTN Pulse bakusobola okufuna omukutu gwa FUZU okuli pooyinti 400 ekinamusobozesa okufuna obuyambi ku bikwata ku mirimu okuva mu bakugu era n’okufuna emirimu.

Abakozesa MTN Pulse abasaba emirimu nga bayita ku mukutu gwa FUZU era basobola okufuna pooyinti okusobola okufuna okuddibwamu okw’amangu era balabe nga ebibakwatako nga basaba omulimu, bikwatagana n’ebyo ebyetaagibwa anoonya omukozi byeyeetaaga nga kibawa omukisa okuyiga. Ekiralala bayiga obukugu obwategekebwa FUZU nga bali wamu n’aba Udemy.

Bwe yabadde atongoza omukago guno, Hellen Kirungi ono maneja mu kkampuni ya MTN Pulse yagambye nti baakola omukago guno ne FUZU, okwongera okuyamba abavubuka mu lugendo lwabwe olw’okunoonya emirimu nga bayita mu kubayigiriza obukugu obubasobozesa okutandika olugendo lwabwe, nga okusomesa abavubuka y’emu ku mpagi MTN Pulse kweyungibwa.

“MTN Pulse ye bulandi ewa abavubuka essuubi era bajaagala nnyo, ng’omukago guno gunyweza obweyamo bwaffe mu kuyamba abavubuka okutuuka ku biseera ebirungi ebyo mu maaso,” Kirungi bweyagambye.

Ate Alvin Kato, Maneja mu FUZU Uganda yagambye nti omukago guno gwebakoze ne MTN Pulse kabonero akalaga eddaala lyebatuuseeko nga batuukiriza ekigendererwa kyabwe eky’okuteekateeka obuwanguzi mu bantu.

“Okuva lwe twatongozebwa mu Uganda mu 2018, FUZU eyambye abantu nkumi na nkumi nga ebalambika mu by’emirimu ne batuukiriza ebirooto byabwe, nga kati omukago gwabwe ne MTN gusobozesa abantu naddala abavubuka okufuna emirimu nga kino kikulaakulanya Uganda.” Bwatyo bwe yagambye.

Abakozesa MTN Pulse basobola okwewandiisa ku FUZU nga bayita mu Apu eya Pulse oba okweyunga ku kitimba (https://www.fuzu.com/signup/mtn-pulse) era nga okusinziira ku Kirungi, agamba nti kyangu abavubuka okwegatta ku MTN Pulse nga balina kuwanula MTN Pulse ku google play store oba iOS app store.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top