Amawulire

Makula alakidde Omusumba Bugingo

Makula alakidde Omusumba Bugingo

Omugole Suzan Makula alakidde bba omusumba Aloysius Bugingo gw’e yayanjudde mu Bazadde wiiki ewedde  mukyala wa Bugingo omukulu Teddy Naluswa n’abantu abalala bwe batuumye emisango ku Bugingo egiyinza n’omutwaza mu kkomera e Kitalya.

Bugingo nga yakulira ekkanisa ya House of prayer ministries international e Makerere webwazibidde eggulo ngebintu byongera mutabukako bukyanga ayanjulwa Makula.

Ngogyeko emisango egyasooka okumuggulwako looya womu Kampala, Mabirizi ne bannamateeka abalala omuli nabakyazimba obujulizi, maama wabaana Teddy Bugingo yeeyasinze okumala egobe mu kibya bwe yasabye kkooti ekomye okunaanya etandike okuwozesa Bugingo.Naluswa yaguddewo emisango etaano ku bba Bugingo nga bwegimusinga wakiri asibwa mu kkomera emyaka egitaka wansi wetaano.

Emisango gya Naluswa egiri ku fayiro nnamba GEF 84/2021 ku poliisi e Kawempe nga giraga nga Bugingo bwepalapalanyiza nayanjulwa Makula ngalinga agenderera okugattika obufumbo bwekinnansi ku mpeta yabwe abawaabi bonna abalala nga Mabirizi ne banne nabo baakugatibwako.

Naluswa aludde ngalemesa  Bugingo ayagala bagatululwe alumiriza nti tayinza kuleka bba bwebabonyebonye emyaka 29 nomusobyo.

Bugingo okwanjulwa Makula yasooka kusuulawo Naluswa ngamaze nokumuvuma nokumulangira buli kimu yasaba kkooti evagatulule.

Omusango gw’e yagusaayo

2019, kyokka kkooti ebadde tenagutawulula era yali ebawadde omukisa boogereganye wabula nga buli omu agamba nti talina boiseera.

Okumanya Bugingo waali wookya, Naluswa omusango aguyisizza mu kkampuni yabannamateeka aberinya aba

Arthur Ssempebwa okuva Katende, Ssempebwa and Company Advocates era omukugu ssempewa yakasizza nti zigenda kwabika emipiira.

Emisango emipya gisanze omusango gwa Bugingo okwawukana ne Teddy  ogukyayinda guddamu nga January 25, 2022 ku kkooti enkulu e   Makindye.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top