Amawulire

2021, olukalala lw’abanene begutute n’abagufunyemu

2021 olukalala lw'abanene begutute n'abagufunyemu

Nga tusemberera okutuuka kunkomerero y’omwaka 2021, waliwo abantu abenjawulo abatikiridde ennyo mu mwaka guno, ate n’abo abagundiivu abatasobodde kumalako mwaka.

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi:

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi omwaka guno abadde nnyo kumimwa gy’abaganda naddala ekiseera we yalwalira. Abaganda bangi bakosebwa nnyo nannyini nsi bwe yalabikako eri Obuganga ng’atawanyizibwa ekirwadde Kya Alagye. Omutanda yajanjabwa era n’atereera era bwe yalabiseeko eri obuganda ku lwokutano mu nnyimba ezamaloboozi ezabadde e mengo yabadde annyirira ng’ekinya.

Robert Kyagulanyi Ssentamu:

Ono ye pulezidenti w’ekibiina Kya National Unity Platform, era absdde nnyo mumswulire oluvanjyuma lw’okuvayo ne yesimba kubwa pulezidenti bwa Uganda mu kalulu akaliwo mu January w’omwaka guno.

Ebintu bingi ebiyitimudde Bobi Wine ennyo omwaka guno, omuli okuwabira pulezidenti Museveni n’ekitongole ekikola ky’ebyokulonda ng’abalumirizza okumubba mu kalulu. Ono era yayingizawo mmotoka etayitamu masasi eyayogeza abangi ebikankana omwali abakulu mu kitongole kyebyokwerinda n’ekikola ku musolo. Abantu bangi naddala abavubuka bamuwuluriramu nnyo era ebiseera ebisinga bahoberera nnyo ebyo byayogera.

Pulezidenti Museveni:

Ono yawangula Akalulu akawedde era n’alayizizibwa. Akoze kinene nnyo okulwanyisa ekirwadde Kya covid-19 era buli lwabadde avayo okwogerako eri eggwanga, abantu bangi omuli abavubuka n’ababadde bamuwuliriza okuwulira kyayogera ku kafyu n’okukendeeza ku muggalo.

Bishop Ssemwogerere:

Ebyama lwaki paapa yalonze Ssemwogerere kubwa ssabasumba

Ssabasumba Paul Ssemwogerere yayitimusse nnyo paapa Francis bwe yamulonda okugira n’alabirira essaza ekikulu erye Kampala oluvanjyuma lw’okufa kwa sabasumba Cyprian Kizito Lwanga.

Gyebuvuddeko, omutukuvu paapa yamulonze okuddira ddala mu kifo kino n’amuwa obwa Ssabasumba mu bujjuvu. Ono naye ayitimuse nnyo omwaka guno era abantu bamulinamu nnyo essuubi nti naye agenda kubalwanirira Nga Ssabasumba Lwanga bwe yakola.

Ssegirinya ne Ssewannyana:

Looya ayogedde kubya Ssegirinya ne Ssewanyana

Ababaka Allan Ssewannyana owa Makindye East ne Muhammed Ssegirinya owa Kawempe North  bombi babadde nnyo mu mawulire olw’emisango egyekuusa ku bijambiya ebyali ennyo mu bendobendo lye masaka. Kigambibwa nti ababaka bano balina kye bamanyi ku kitta bantu ekyo. Kooti egezezzako okuyimbula ababaka bano, kyokka oluvanjyuma ne bakwatibwa era ne bazibwayo mu makomera.

Andrew Muwonge:

Ono ye yalangiriddwa Ku bwa Sentebe bwa disitulikiti ye Kayunga mu kulonda okwa kasameme okwabaddeyo mu wiiki ewedde.

Obuwanguzi bwa Muwonge, naye yabadde tabukiririzamu, kuba yabadde akkirizza nti awanguddwa, kyokka naye yewunyizza okulaba ng’alangiriddwa ku bwasentebe, ekintu ekyawunikitizza ennyo abantu be Kayunga n’okusanikira Uganda.

Abagenze n’omwaka:

Archbishop kizito Lwanga: Nga 3 Apirl w’omwaka guno, Eklezia naddala mu ssaza ekkulu ey’ekampsla ly’akeerera mu kyobeera oluvannyuma lw’eyali ssabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga okusangibwa ng’afiridde mu maka ge agasangibwa e Lubaga okumpi ne klezia Lutikko.Abasawo okuva mu dwaliro e Nsambya ne Mulago oluvannyuma lw’okwekebejja omulambo bategeeza nti, basanga akatole k’omusayi mu mutwe nga ketuzze era kye kyamuviirako okufa. Ssabasumba Lwanga yaziikibwa mu eklezia Lutikko e Lubaga.

Maj.Gen. Paul Lokech:

Ono ye yali omumyuuka wa ssabadumizi wa poliisi ya Uganda. Lokech yayatikirira nnyo mu kufeffeta abakambwe ba ADF abali bafuse ekizibu mu gwanga lya Mogadishu, ekyavako n’okupatikibwako erinnya lya “Lion of Mogadishu”.

Ono yafa nga 21/8/2021 nga yakamala emyeezi 8 ng’akola ng’omumyuuka wa ssabadumizi wa puliisi ya Uganda. Ebbanga lye yamala mu kifo kino, Lokech yasobola okufefeta n’okutta abali bagala okutta Gen. Katumba Wamala. Poliisi yategeeza nti Lokech okufa, yasooka kuwanuka ku katebe n’agwa bwe yali ateekayo balubu, kyokka ate oluvannyuma ne tutegeezebwa nga bwe yafuna okwetugga kw’omusaayi mu kifuba bwe kwamuvirako okufa.

Yaziikibwa mu disitulikiti ye Padwel nga.

Bulaimu Muwanga Kibirige:

Ono y’omu kubali absgagga abamanmya mu kampala. Ye yali nannyini woteeri ya Africana esangibwa mu Kampala. BMK yafiira mu dwaliro e Nairobi mu Kenya Nga 10/9/2021 oluvuganya lw’ebbanga ng’atawanyizibwa ekirwadde Kya kokolo.

Ono yazikibwa mu limbo y’abasilaamu e Wakiso, gye yatandikirawo abasilaamu. BMK yayagala nnyo obwakabaka bwa Uganda era y’omu kubawagiranga emirimu gy’obwa Kabaka omuli n’okulwanyisa ekirwadde Kya Nalubiri.

Metropolitan Yonna Lwanga:

Ono Yali ssabasumba w’eklesia y’aba Othodox mu Uganda. Yali mussjja mulwanirizi wa ddembe ly’obuntu naddala eri ebitongole bya gavumenti ebitulugunya abantu.

Ssabasumba Yonna Lwanga ajjukirwa nnyo Bwe yatabukira pulezidenti museveni nti Yali asusizza okwesiba kubanna Uganda Nga yekwasa Nga Bwe yalwana.

Yafiira mu gwanga lye Buyonani gye Yali agenze okukeberebwa oluvannyuma lw’ebyali bigambibwa nti Yali awereddwa obutwa. Yaffa Nga 5/9/2021 n’azikibwa ku eklesia e Namungoona.

Muhammed Ffeffeka Sseluboggo:

Ono Yali mukiise mu lukiiko lwa Buganda era ye yali sentebe wa disitulikiti ye Kayunga.  Ono omulambo gwe gwasangibwa nga gulengejjera ku muti gw’omuyembe nga 16/7/2021. Kigabibwa okuba nti yatugibwa omulambo ne guwanikibwa okusobola okubuza obujulizi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top