Ebyama bitandise okuvaayo ku lukwe olutandise okupangibwa aba NRM okuggyako Bannayuganda eddembe ly’okwerondera Pulezidenti obuyinza obwo bulekerwe babaka ba Palamenti n’abakulembeze ba Gavumenti ez’ebitundu.
Mu kiseera kye kimu omukulembeze w’ekibiina kya NUP, Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine alabudde bannansi okubeera obulindaala ku mulundi guno obutakkiriza NRM kubasiba kantuntunu nga bwezze ekola.
Bobi Wine eyabadde ayogeza obumalirivu yalabudde nti enteekateeka eno Pulezidenti Museveni y’agiteembeeta nga kigambibwa nti ayagala kuyisaawo mutabaniwe Maj. Gen. Muhoozi Kainerugaba nti kubanga akimanyi tayinza kuwangulira mu kalulu ka bonna.
Bobi mu bubaka bwe yatadde ku mitimbagano yakunze abantu buli omu okubeera obulindaala okulemesa enteekateeka eno nti bwe banadda mu kwetuulako nga balowooza nti ye Bobi Wine yalina okubakolera buli kimu ebiddirira tebamunenyanga.
Aba NUP balowooza nti NRM ereese pulaani eno kubalemesa kubanga ekimanyi nti olw’okuba ebeera n’amaanyi mu Palamenti esobola okukologa akalulu mu Palamenti n’eyisaawo omuntu yenna gwebeera eyagadde.
Ensonda mu ofiisi za Gen. Muhoozi zaategeezezza nti mutabani wa Pulezidenti talina kakwate ku pulaani eno.
Kyokka abamu ku bawagizi ba Gen. Muhoozi Kainerugaba omuli n’omutegesi w’ebivvulu Balamu Baharagate bazze bamutembeeta n’okukuba posita n’emijoozi egimutunda okuvuganya ku bwa Pulezidenti awatali abakuba ku mukono.
Ate omuwabuzi wa Pulezidenti mu by’amawulire Tamale Mirundi yategeezezza nti pulaani y’okuggyawo okulonda Pulezidenti obutereevu yandibaamu abamu ku bako b’embuga nga baagala okutwala obuyinza nga Museveni avuddewo.
“Abako baagala buyinza era balowooza nti basobola okukozesa ssente, okukozesa Palamenti erondemu bbo, balinga abalowooza nti Pulezidenti talina mwana asobola kumusikira?” Mirundi bwe yayombye nga bwabuuza nti omuko asikira waani?
Bino byonna biddiridde akabinja k’ababaka ba NRM abaagwa mu kulonda okuwedde
abeegattira mu kibiina kya Transformer Cadres Association Uganda nga bakulirwa Felix Adupa Ongwech eyeesimbawo mu Kioga County n’agwa okutegeeza nga bwe baagala okulonda Pulezidenti okwa bonna kuveewo.
Bano baagambye nti olw’emivuyo ne ssente ezoonoonebwa mu kampeyini baagala Gavumenti ereete enkyukakyuka ng’abantu balina kulonda babaka ba Palamenti n’abakulembeze b’ebitundu olwo bano ne balonda Pulezidenti.
Baategeezezza nti baagala ne Palamenti eyawulwemu enkiiko bbiri Palamenti enonde n’endala eya senate kyokka ng’eno abagikiikamu balondebwa bibiina byabwe okusinziira ku maanyi gaabyo mu Palamenti ennonde.
Baagambye nti bagenda kusisinkana Pulezidenti bamuguze ekirowoozo kino bwe kiyitamu akyanjulure mu kabondo k’ababaka ba NRM, kigende mu mitendera oluvannyuma kireetebwe mu Palamenti kissibwe mu nkola.
Kyokka Adupa yeegaanye nti tebatumiddwa Pulezidenti ng’abantu abamu bwe batandise okukibassaako.
Guno ssi gwegusoose ekintu bwekiti okwogerwako kubanga ne gye buvuddeko waliwo aba NRM abakulemberwa eyaliko sipiika wa EALA, Margaret Zziwa ne banne abakisinyako bwe baali basisinkanyemu Pulezidenti Museveni e Rwakitura.
Olwo kigambibwa nti baali baagala kuwaawo magezi butya Pulezidenti Museveni bw’asobola okusikizibwa, nadda ebbali kyokka ng’akyalina amaanyi agaluŋŋamya ssinga omusikaawe abeera awaba.
Mu pulaani eyo, obuyinza obuteesa bulekerwe olukiiko lw’abakadde abalondebwa ebibiina, lw’oyinza okuyita Senate nga lukulemberwa Museveni era asigale nga ssentebe w’ekibiina kya NRM olwo ku ntikko.
Waliwo n’ebiwanuuzibwa nti enteekateeka eno eyagala n’okukendeeza ku leebuleebu wa kampeyini z’obwapulezidenti ezibadde zitambuzibwa eggwanga lyonna ne zitwala ssente nnyingi naddala ku ludda lwa Pulezidenti ne’effujjo mu nkuηηaana.
“Oluusi omukulembeze ow’enkizo kisoboka okumugondezaamu bwe kiba nti eggwanga likyamwetaaga. Tojjukira nti ne Mzee Jommo Kinyatta waliwo abasawo lwe bamuwa amagezi asinge kufugira Mumbasa ku lw’obulungi bw’obulamubwe olw’okuba yali agenda akula ate nga Nairobi ebiseera ebisinga ebeera enyogoga nnyo” Omu ku bawagizi ba NRM bwe yagasseeko.
Kyokka aba opozisoni balabudde nti tebagenda kukkiriza nteekateeka ez’engeri eno kubaawo mu Ggwanga.
Bano beegatiddwako bannamateeka okwabadde ne Peter Walubiri abategeezezza nti palamenti tesobola kusalawo yokka mu by’okukyusa enfuga oba ennonda ya Pulezidenti nti kyetaagisa n’akalulu ak’ekikungo era ebibiina byetegeke okubiwakanya.