Enkalu zeyongedde mu bukulembeze bwa paaka enkadde oluvannyuma lw’okukakasibwa okutandika okukola nga kati obuzibu buli ku ani agenda okukulembera paaka eno.
Paaka enkadde eMazze emyaka ebiri nga eddabilizibwa wansi ,okugitekamu layini emmotoka wezinasimba ku siteegi , nebintu ebilala kati ewdde gavumenti negikwasa abatakisi naye nga obuzi kati buli ku bukulembeze kubanga waliwo obukulembeze bwa Kirabira Peter , ne Karim Mulindwa nga buli ludda lugamba nti lwelugenda okuvunanyizibwa ku paaka eno.
Peter Kirabira agambye nti bulijjo kyebabadde balinda bakituseeko kati bagenda kutuula ng’abakulembeze ba takisi abakulembera paaaka eno basalewo olukiikko olutuuufu olugenda okukulembera paaka balewo okusika omuguwa mu bukulembeze bwa paaka eno era batandise okwogerezeganya .
Kirabira ayongeddeko nti okugulawo paaka enkadde kivudde ku kuzaayo abaana ku masomero era tebagenda kwongezaayo bisale era gavumenti
Haji Badir Sserunjonji Ssentebe wa paaka empya agambye nti gavumenti okumalilizza paaka enkadde kigenda kumalawo omujjuzo ogubadde mu paaka empya olwasiteegi ezimu ezaali zaletebwa mu paaka empya nga kati zino zigenda kuddayo mu paaka enkadde omujjuzo gugwewo mu paaka empya era kikendezze ne siteegi ezibadde ku bali g’e nguudo ezibadde zimalawo abasabazaze.
Hanji Minsa Kabanda minisita wa Kampala agambye nti bassdazeewo okugula paaka wadde waliwo ebikyasigalidde naye bagya kubimalilizza nga takisi mweziri , era ntii paaka bagibaliliddetakisi 344 zezigenda okubeera mu paaka okuva ku muwendo gwa takisi ogubadde gusoba mu 10000 ezibadde zikoleramu.