Ababaka ba palamenti Allan Ssewanyana owa makindye East ne Muhammed Sseggirinya owa kawempe North balumiriza babaka bannabwe okuva mu kibiina Kya National Unity Platform (NUP) okubeerabira okuva lwe bakwatibwa, nga kati balinga abasanyuka nga bbo bavundira mu kkomera.
Ababaka bano bakwatibwa mu September w’omwaka oguwedde nga bateberezebwa okubaako kye bamanyi ku bijambiya n’ettemu ebyali mu bendobendo lye masaka nga kati Bali mu kkomera lye Kigo.
Kuntandikwa y’omwaka guno, kigambibwa nti ababaka bano now bayita mu ofisa avunanyizibwa ku kkomera lye Kigo, bawandikira ababaka ba NUP ebbaluwa nga bemulugunya okubasulirira n’obutateeka kazito ku gavumenti okulaba nga bayimbulwa, kuba n’abo bakimanyi nti bawayirizibwa.
“Okuva lwe twakwatibwa, ababaka ba NUP bekalakasako omulundi gumu bwe bekandagga be bafuluma palamenti mpozzi n’okuleeta ekiteeso kubyokukwatibwa kwaffe, Kati tebakyatufaako era kino kitulaga nti tetukyalina mugaso mu kibiina Kya NUP ne mumaaso g’ababaka abo” bwebatyo bwe bategezezza mu bbaluwa gye bawandiise.
Bano era bategezezza nti, ekiseera MWe babadde basinga okwetagira babaka bannabwe are kye kiseera MWe babesambidde, nga kati mu NUP be babonerezeddwa kulwabalala.
Ababaka bakolimye nga bagamba nti, kale bbo kababonebone Leero n’enkya, naye lumu n’abo bajja kuloza ku nnaku gyebayiseemu.
Ebbakuwa Eno eyasasanidde ennyo kumitimbagano gyempiliziganya ezenjawulo, yawalirizza Akulira oludda oluvuganya gavumenti era nga Naye wa NUP Mathius mpuuga Nsamba okugenda e Kigo okulambula n’okulaba embeera gye balimu awamu n’okubagunya.
Mpuuga yasambazze ebigambibwa nti Sseggirinya ne Ssewanyana bawandiise ebbaluwa nga bemulugunya eri babaka bannabwe mu kibiina obutabafaako era n’ategeeza nti bwe yabakyalidde tebalina ddoboozi lyawamu lye bamugambye nga bemulugunya oba okulumiriza ababaka obutabafako bwe yabadde anyumyamu n’abo.
“Ekibiina tekiyinza kuba nga kyaberabira ate nga kye kisindika ba looya okubawolereza ebbanga lyonna ate n’okukikirira ababaka kuba bonna tebasobola kubeera mu kooti ebbanga lyonna, era ekibiina kirwana okulaba nga bateebwa. Ono era yagambye nti ebbaluwa essasana tagyekasasa, kuba yawandukiddwa abantu abagala okulaga nti obukulembeze bwa NUP tebufa kubabaka babwe, naye Ffe tumanyi amateeka era tugagoberera bulungi nga bwe tulinda obujulizi gavumenti bweleeta okuluma ababaka abasibe.
Ababaka bano baggulwako emisango egyenjawulo mu kooti e masala omuli ogw’obutujju, ettemu ate n’okwagala okutta , ebiseera abebijambiya bwe balumba abantu mu bendobendo lye masaka abantu abasoba mu 30 mwe bafiira nga balumbibwa abantu abatategerekeka, era omulamyzi mu kooti eno yabasindika mu kooti enkilu kuba emisango gyali girina kuwulirwa kooti nkulu.