ABAKULIRA ebyenjigiriza district ye Buikwe bawakanyiza ekiragiro kyo omulabirizi w’eMukono Rt. Rev. James William Ssebagala okugaana abaana abawala abalina embuto mumugalo okuda kumasomero g’ekanisa okusoma. Bano bagamba nti ekiragiro kino sikya bwa Katonda kubanga bangi kubaana baana bano tebeyagalira kufuna mubuto nga nabamu kubano bakwatibwa bakadde babwe.
Joyce Nalubega Senior Education Officer mu Distulikiti y’eBuikwe agamba ekyo kugana abayizi bano mumasomero g’ekanisa kikyamu era nti kino kyandivirako eggwanga okufuna omulembe ogutasomye kubanga Disitulikiti y’eMukono nge kirina okukolebwa kwekubasomesa engeri gye bagenda okulekamu abaana babwe saako nengeri gye bagenda okuyisibwamu ku somero.
Ono okwogera bino abadde akwasa amasomero ga gavumenti mu disitulikiti eno agayambibwako eggwanga lya ICELAND emere agenda omukisa abaana okumalako olusoma luno.
Kinajukirwa nti omulabirizi Ssebagala nga enaku zo omwezi 10 yalagira abakulira amasomero abali mumusango gwe ekanisa mubulabirizi buno obutakiriza mwana yena kuyingira somero nga ali lubuto oba nga ayonsa nga agamba basobole bazaale bamale okuyonsa balyoke badde musomero ekikontana ne ekiragiro kya gavumenti ekya lagira amasomero okusomesa abaana bona naabo abalina embuto mumugalo.
Wabula Nalubega agamba nti kino okubeera kwesitaza baana bano kubanga tebakyagala kufuna mbuto ekyogerwako ne mu kirabo ebitukuvu nga ekyandibadde kikolebwa kwekubanonya bona gyebaali badde mumasomero basome eggwanga lileme okufiirwa bana Uganda.
Ono ayongerako nti Bishop okugaana abaana bono okusoma kubanga kubasarila musango era nti omulabirizi asooke alowooza ku mukrisitaayo owenkya agenda okuyimirizawo.ekanisa nga tanabagoba mumasomero.
Ono agamba nti kino kyekiseera buli avunanyizibwa okukola omulimu gwe eri abaana banno saako no kwogera nabo kinomu singa banabolebwa ate badigenda mu maaso nokuzaala abaana abarala ekigenda okuvamu butafuna bantu ba buvunanyizibwa era ono aawadde amagezi foundation bodies nti banno singa bagobebwa bagenda Kutigomya abantu omuli okusika obusawo, okubba abatasomye bangi wabweru banonya engeri gye baberawo.
Newankubadde omulabirizi ssebagala yalagide amasomero ge obutakiriza bayizi bambuto, no abakulira amasomero gano mu disitulikiti eno bagamba nti tebagenda okugoba mwana yena mu somero era nga abali embuto bakusomera wamu nabaliko obulemu baleme okufiirwa kubanga basangiddwa nga amasomero balina enkola yo okusomesa abaliko obulemu.
Ekanisa ya uganda mubulabirizi bwe eMukono ye singamu amasomero bayambibwako gavumenti mu disitulikiti okuli Mukono Kayunga, Buvuma ne Buikwe nga mu disitulikiti y’eBuikwe yoka abaana abaana abawala abafuna embuto mumugalo basooba mu 700.