Amawulire

Ebitiisa ku bulamu bwa Mutebile abadde gavana wa banka enkulu

Ebitiisa ku bulamu bwa Mutebile abadde gavana wa banka enkulu

Emmanuel Tumusiime Mutebile abadde gavernor wa banka ya Uganda ehafiridde e Nairobi abadde yafa dda olwebirwadde ebibadde byamumalayo Edda. Amawukire go kufa gaasinze kukuba  bana byanfuna  okwetolola ensi yonna  kubanga wadde abadde yanafuwa kyokka obwongo bubadde bukyamwesera.

Eno yeensonga lwaki ne Pulezidenti Museveni omwaka oluwedde yamuzizza ku bwa gavana era okugenda mu Palamenti emukakase yagendera ku kagaali.

Ku  Sunday kumakya  banka enkulu yabise nti yafiride mu ddwaliro lya  Nairobi Hosipital.

Ono nga tanafa abadde tava mu malwaliro  abadde atawanyizibwa ekirwade ky’ensigo, sukaali, puleesa nebirala era obulamu bwe bwonna ensonda zitegezezza abadde abutambuliza  ku battery ebadde erimu amasanyalaze agabadde gakyaginga obulamu nga omuliro bwe guggwa ku manda agabadde gatambuza obulamu bwe  ng’ayinza okufuna obuzibu  .

Okusinziira ku mubaka we Nakseke Paul Luttamaguzi omu ku baatula ku kakiko akaali akakakasa Mutebile yagamba nti ebibuuzo byonna ebyamubuzibwa yabiddangamu bulungi naye yalabika nga omubiri gwali mu munafu

Mutebile amazze emyaka egisiba mu 20 nga yakukira bbanka enkuku eya Uganda era akoledde ebitongole ebyamanyi ebyebyenfuna mu nsi yonna okuli IMF, world bank nebirala.

Kigambibwa nti Katonda yamumma abaana kyokka mu Uganda ebyenkomeredde ku baana bimanyibwa mu kuziika katubirinde.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top