Ebyobufuzi

Wuno omukyaala Baba Vanga eyalagula olutalo lwa Russia ne Ukraine mu 1990

Wuno omukyaala Baba Vanga eyalagula olutalo lwa Russia ne Ukraine mu 1990

Ebyewunyisa engeri jebitagwa munsi, tukuletedde emboozi y’omukyala Baba Vanga eyalagula olutalo oluliwo kati wakati wa Russia ne Ukraine. Ono enzalwa ya Bulgaria era nga yazalibwa nga 3/11/1911 wabula naffa nga 11/08/1996, kyoka nga weyafira yaleka alagudde ebintu ebiwerako nga nebisingako byatukawo.

Ono kumyaka 12 yaziba amaaso era nga okusinzira ku bweyategeeza nga tanaffa,yagamba nti yali amaze okwambalwa amannyi agenjawulo. Byeyalagula tebyasooka twalibwa nga byamakuu wabula nga wakayita emyaaka enna (4) nga yakaffa, okulagula kwe kwayolekebwa nga amataba gazinze ekibuga Kursk.

Wano abasinga webatandikira okuteeka eriiso ejoji kubintu omukyaala ono byeyalagula era nga bagamba nti ebitundu 85 kubuli kikumi bagamba nti bitukiridde.

Ono byeyalagula bigendera ddala mpaka mumwaaka gwa 5079 omwaka okusinzira ku Baba Vanga gweyagamba nti gwegugenda okuberako enkomerero y’ensi.

Okulagula kwa Baba Vanga kulutalo lwa Russia ne Ukraine

Nga tanafa, Baba Vanga yaleka alagudde ku lutalo oluliwo wakati w’eggwanga lya Russia awamu ne Ukraine. Ono newankubadde yaffa emyaaka 24 ejiyise, yagamba nti omukulembeze wa Russia ayitibwa Vladimir Putin alifuuka ow’amanyi munsi yona era nga aja kufufugaza Europe kwosa nokufuga ensi yona nga era tewaliba alisobola kwepima mu Russia.

Wabula yagamba nti oluvanyuma Putin alitibwa mu Kremlin amakka gg’obwa pulezidenti we Russia agasangibwa mu Moscow.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top