Amawulire

Putin olutalo lutandise okumukeeta, abajaasi emitwalo 20,000 Baffu

Putin olutalo lutandise okumukeeta, abajaasi emitwalo 20,000 Baffu

Eggulo webwazibidde nga kalibukambwe Vladimir Putin akulembera eggwanga Lya Russia eriri mu kulwanagana nerya Ukraine  asobeddwa oluvanyuma lwolutalo okulalambala.

Putin mu kuzinda Ukraine wiiki satu eziyise bakomandabe baamubalira nti yali agenda kumenya mu jjenje kkalu wabula olutalo lumizitoyeeko.

Ebitongole vta byamawulire okwabadde BBC, CNN ne Daily Mail byategeezezza nti Putin y’abadde atandise okutokota amawanga mikwanogye gamuddukirire wakiri nabalwanyi.

Kyokka  Jeo Biden omukulembeze wa Amerika  yalabudde nti eggwanga erinakuta ne Russia mu Lutalo luno lyakukigwako.

Biden yagambye nti Amerika, Bufaransa, Bungereza ne  NATO okutwaliza awamu obutetaaba mu Lutalo luno butereevu kukolebwa mu bugenderevu nti kubanga webalwetabiramu babeera bakoleezezza  ssematalo owokusatu ate gw’e bateetaaga.

Kyokka yagambye nti ebyokulwanyisa ebyomulembe nobukodyo byebawadde Ukraine mu Lutalo luno bifukamizza Russia ate nga ne natti zebagikalize nebanagagga baayo abali mu mawanga ga Bulaaya etandise okuziwulira era emmaali nyingi egenda okubafa eddire Ukraine bwekutabeere kuwonga nyo.

Abakugu mu byentalo ne Ukraine baategeezezza nti Putin lwakwekaza naye atudde ku muliro gwenyini.

Okunoonyereza kulaga nti bukya alumba Ukraine,yakawamba ekibuga kimu Kyokka ekye Kherson Ebirala ngekibuga ekikulu ekye  Kyiv nebirala amagye ga Ukraine gakyabimulemesezza wakati mu kulwana kakuuse kwatasuubira.

Gavumenti ya Ukraine n;abakugu mu byentalo baategeezezza nti Russia yakafiirwa abajaasi  Kati 20,000 mu ddwaniro,

Ttanka  453 ,ebimmotoka ebyetikka Ttanka  96, ate  emmotoka enwanyi  1,165.

Omukugu gwamagazini ya Oryx gwayongeddeko nti Russia yeemu era y’abadde yakafiirwa ennyonyi 58, Helicopter 96, ebigaali ebiwalula emizinga180, amaato 17, emmotoka oba mmamba 600 , Drone 21 ne Ttanka ezikuba ennyonyi 42.

Ye Pulezidenti wa Ukraine, Volodymyr Zelensky  ku wikendi yagambye nti bakyalwana bwezizingirire okuswaza abajoozi ababalumbye mu nsi yabwe nacoomera Putin obutabalirira musaayi gwabantu abafa.

Waabaddewo nentegeka zokutuuza Russia ne Ukraine ku meeza mu Turkey bakomye olutalo okugambibwa nti lwelukyasinze okubeera olwomutawaana mu Bulaaya okuva mu ssematalo owokubiri.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top