Ebyobufuzi

Gavumenti eyuuga: Baminisita ba M7 abalwanagana: BAGALA KWETTA

Gavumenti eyuuga: Baminisita ba M7 abalwanagana: BAGALA KWETTA

Entalo ezigenda mu maaso mu Baminisita ba Pulezidenti Museveni abenjawulo zikanze abantu abamu nga bagamba nti Gavumenti eyuuga. Kigambibwa nti mu kabineeti mulimu Baminisita abepinga ekiyinza okuleka ebituli mu buwereza.

Kino kidiridde ssaabawolereza wa Gavumenti munnamateeka Kiryowa Kiwanuka okujja ngawakanyizibwa minisita omubeezi owebyettaka munnamateeka Sam Mayanja.

Bano wadde balina okukwatagana kyokka bazze bawukana ku nsonga eziwerako omuli Ettaka lye Nagguru, ebyokuliyirira abagagga olwokuyisa pulojekiti za Gavumenti ngamasanyalaze nendala ku ttaka lyabwe nensonga za Buganda’.

Enjawukana zabwe ezigambibwa nti tezitandise Kati era ziyingiridde nemirimu gya minisita webyettaka  Judith Nabakooba.

Ensonda mu lukiiko lwabaminisita zaategeezezza nti waliwo Baminisita bangi abaterabawo abawanyisiganya ebisongovu, okwezimuula oba  okwekuba bodde mu nkuubo nga babadde beesanze.

Zaayongeddeko nti kino kirina engeri gyekikosaamu empereza ya Gavumenti.

Gyebuvuddeko waabaddewo olukonko olwamaanyi era olutanaviirawo ddala wakati wa ssabaminisita Nabbanja ne minisita webiggwatebiraze Hillary Onek.

Bano baabadde bafafaaganira ssente obuwumbi 5 Nabbanja zeyabadde atema ku bajeti ya Onek eyobuwumbi 15 zokka. Kigambibwa nti Onek akyali musunguwavu olwomukazi ono ayagala okumuyisaamu amaaso.

Ate e Masaka nayo waliyo Baminisita abavaayo abali ku mbiranyi eyamaanyi okuli ne minisita wa jjegejjege Kasolo  ne minisita omulala omukazi( amanya galekeddwa) .

Olutalo lwa bano lwasitusizza nomumyuka wa ssentebe wa NRM, Al Hajj Moses Kigongo okubakakanya.

Ensonda zaayongeddeko nti ne minisita wensonga zamawanga agomuliraano era omumyukyuka wa Katikkiro asooka Rebecca Kadaga alina baminisita nabanene mu Gavumenti abamuwunyira ziizi nga ne sipiika Jacob Oulanyah nomumyukawe Anita Among  bwe balina ababwe.

Wabula waliwo aba NRM abategeezezza nti Gavumenti eri Ggulugulu nti Muzeeyi Museveni bwatyo bwatera okubala ebyobufuzi abantu bonna nebaddukiranga ewuwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });