Bya Christine Kyongo ne Grace Alitujuna
Obutakwaatagana, obutakkaanya okulwanagana n`okusika emiguwa mu bakulembeze ba city ye Mbale kwolekede okuzinngamya entambuza ye mirimu ne nkulaakulana, entalo zino ziri wakati wa mmeeya wa city ye Mbale Kassimu Namugali, RCC Ahamada Washaki ne mmeeya wa Industrial city division Muhamood Masaba, okulwanagana kuno kwatandika mu 2021 oluvannyuma lwo kulonda abakulembeze abanaddukanya ekibuga, nga kino kyaava ku bakulembeze ba Industrial City okuvaayo ne balagira aba city okwaamuka ebizimbe mwebali bagende ku district, ekintu akyaalema wabula ye Muhamood Masaba yasalawo okussa ofiisi ye mu kizimbe kya city hall era mwakolera emirimu gye. Kuluno mmeeya wa city Kassimu Namugali alumiriza munne Muhamood Masaba ne RCC we Mbale Ahamada Washaki obutamanya we bakoma ne bayingilira emirimu no buyinza bwa kkanso.
Ku mulundi guno kalunsambulira weyavudde ye kkanso okugaba ttenda y`okusoloza ensimbi za parking eyaweebwa aba Nalu Tour & Travel LTD, wabula RCC Ahamada Washaki yavuddeyo nagamba nti ttenda eno erina okusazibwaamu kubanga abagiweereddwa tebalina busobozi kugiddukanya, wano neyegattibwaako mmeya Muhamood Masaba naye nga agamba nti kkanso kyeyakoze yakikukusizza teyawadde bantu ba mu Mbale mukisa kubanga be balina okusookerwaako, era ye alwaanira bantu be na bwenkanya kubanga ttenda eno yaweebwa abantu okuva ebweeru wa Mbale. Ssipiika wa city ye Mbale Kasajja Musa agambye nti emirimu gyonna egikolebwa girina okugobelera amateeka era agamba nti obutakkanya obuliwo bulina kugonjoolwa nakutuula njuyi zombi bajjeewo okulwanagana balabe nga badda mu kukolera abantu okusinga okudda mu ntalo.
Wabula mmeeya wa Mbale city Kassimu Namugali alumiriza Muhamood Masaba okubeekiikamu nokufutyanka obuyinza bwaabwe nga olwasooka kkanso yayisa ekiragiro okujja abatembeeyi ku nguudo ze kibuga, wabula Muhamood Masaba yabyesimbamu nabagaana okuva ku nguudo nga agamba nti kkanso esooke etegekere abatembeeyi bano gyebalaga, era no kutuusa kati bakyalemedde ku nguudo era beyongera kuwera. Naye ate RCC Ahamada Washaki yagambye nti akola mulimu gwe era yamaze dda okubawandiikira ttenda eno bagisazeemu, ate era waliwo ne aba BAO Construction Company gwebaali bawadde ttenda y`okuzimba ebibiina ku ssomero lya Yoweri Museveni PS mu Mbale, era Washaki yamugaana naamulemesa okuweebwa ttenda eno nga amulumiriza okulemwa okuzimba amasomero abiri e Manafa okuli Sibanga Seed SS ne Buwagogo Seed SS nga gano gaalina okumalirizibwa mu 2020 naye n`okutuusa kati tegannaggwa ate nga ensimbi zonna zaali zamuweebwa, kati bwe nnayimiriza abantu ngaabo ne bagamba nti mbalwanyisa Washaki bwagamba.
Ye Muhamood Masaba agambye nti vvulugu ajjudde mu city kkanso era tayinza kumala gatunula nga obulyaake ekika kino bugenda mu maaso, agamba nti enguzi efumbekedde mu kkanso ye nsonga lwaaki bamala ga kukusa ttenda ne bazigabira abatalina busobozi kuziddukanya, ate ne kilala abantu abakolera mu kibuga kye Mbale bebalina okuweebwa omukisa ogusooka, naye kuluno bamaze gagaba.