Ebyobufuzi

Obuwumbi 2 ababaka ba NRM bwebagabanye okulonda sipiika n’omumyuka we bubatabudde

Obuwumbi 2 ababaka ba NRM bwebagabanye okulonda sipiika n'omumyuka we bubatabudde

Esonda okuva mu palamenti zitegezezza nti  ababaka ba NRM  401 bawereddwa   ebbaasa  yabukadde 5  okubebaza  okulonda Anita Among omubaka omukyala  owa Bukedea  ku bwa sipiika wa Uganda  n’omumyuka we   Thomas Tayebwa era omubawa wa  Ruhinda North ,   ensimbi zino buli mubaka yazifunidde mu kitundu kyavaamu   nga  ababaka abava mu  Buganda zawereddwa  omubaka omukyala owa Mubende Hope Grania Nakazibwe  eyazisasanyiza mu bakaba ba NRM .

Kigambibwa nti waliwo ababaka nadala abava mu Busoga abatafunye ku nsimbi zino nga babalanga kubeera bawagizi ba eyali sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga ekintu ekyalesewo olutalo  mu babaka bano olw’okuyombna kwebasitude  nga bagamba nti  nabo bawagizi ba NRM  lwaki babasosola .

Amyuka  akulira akabonda  ka babaka ba NRM abava mu Buganda   era omubaka wa palamenti owa Kibuku Tom Kinobere agasmbye Ssente zino zawereddwa ababaka b zabadde za kugulayo ku mafuta  okubasobozesa okukola emirimu gyabwe munsonga esinga okubeera obulungi era nti tekitegeeza nti bazibawedde  kubebabaze  okulonda  sipiika ne n’omumyuka.

Ababaka abali ku ludda lwa opozisoni nga bakulembeddwa Omubaka wa Kalungu  West Gonzaga Sewangu Agambye nti wabaddewo okugabira ababaka ba NRM ssente  era buli mubaka wa NRM yaweredwa ensimbi  obukade 5 era  kyokka  nti kikolwa kyabuswavu nnyo kubanga ensimbi zino zandibadde zikozesebwa okukola ebintu ebirala omuli okuzimba amalwaliro  mu bitundu byebakilira okusinga okuziwa abantu   sekinoomu.

Ababaka  abalala abekibiina okuli Cissy Namujju  omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Lwengo bategezeza nti ensimbi baazifumnye era  mu kuzibawa tewali wesatadde mukono era  bagenda kuzikozesa kubanga tebawereddwa mbalilira yazo

Kamisona wa palamenti Solomon Silwany agambye nti  tanafuna ku mawulire nti waliwo ababaka ba NRM abafunye ensimbi  obukadde 5 obubebaza okulonda sipiika n’omumyuka we era abalumiriza ababaka nti bafunye ssente bebamanyi byebogera.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top