Abasuubuzi abakolera mu bizimbe bya Kampala basattira olwa bagagga bananyini bizimbe okwongeza amaduuuka nga buli dduuka balikubisizaamu emirundi ebiri abasubuzi kyebagambye nti embeera ebalemeredde bizinensi bagenda kuzisulawo.
Godfrey Katongole ssente w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya KATA agambye nti abagagga babefulidde nebongeza ebizimbe ate nga babadde bakabasasula ssente za lenti ez’emyezi egisoba mu 4 gyebatakola nbga bali ku mugalo.
Katongole agambye nti abagagga okuli Lubega Drake bongeza ebizimbe okuli Qualicel Terminal , Pentagon , Energy Center ekintu ekitadde abasubuzi ku bunkenke nebagamba nti tebagenda kukirizza ku bibwa kubanga ekiseera kino ebintu biri waggulu bakasitoma tebalabika ate kati abagaga bongeza lenti .
Bano bagambye nti bagenda kwekalakaasa bagalewo amaduuuka kubanga tebalina ssente zebagenda kusasula bagagga wadde nga buli avaayo okwongera okuwakanya akwatibwa natwalibwa mu makomera nagulibwako emisango egy’enjawulo okuli okukuuma kuma omuliro mu basubuzi n’okwagala okwokya ebizimbe byabwe .
Abalala bagambye nti abagagga babataddeko bakanyama ababbega okubalemesa okuva ku bizimbe gwebakwata nga asenguka ku kizimbe bamuwambako ebintu bye nebabitwala ewomugagga nananyini kizimbe ekintu kyebakoye , ensonga bazitutte bakulira KCCA kyokka tebayambiddwa. kati bagenda kwelwanako. .