Olupapula lwa Sekanolya lukwekudde ebyama lwaki Hajji Ibrahim
Bulu Katale ngono yaliko omumyuka wa pokino we Buddu ngatera ye
gagadde wa UTODA-PUT SAFE LTD omu kubasajj’abawagizi ba NRM kulwe
mubendobendo lye Masaka ngatte yomu kubakyaliwo abasibula pulezidenti
Yoweri Kaguta Museveni bweyali agenda munsiko ngatera yomu
kubamwanirizza ngakomyewo abakwasa ssabasajja kabaka Ronald Muwenda
Mutebi 11 luzudde ebyama ebitisa lwaki amulajanidde amutase kubwavu
nenaku gyayitamu.
Hajji Bulu bweyabadde ayogeramu nebannamawulire mukibuga Masaka
yagambye nti yasimye pulezidenti Y.K Museveni okuvayo nawa bamusaayi
mutto obwa RDC ne RCC okusobola okulaba nganabo balina ettafaali
lyebagatta kuggwanga lino Uganda wabula namusab’afiseyo akadde ayite
basajjabe enkwata ngabo abakola omulimu ogwetendo okulaba nga egwanga
lino libukalamu emirembe.
Hajji Bulu yategezezza bannamawulire nti ezimu kummotoka
zeyatekay’okulwanirira eggwanga lino kwaliko Mitsubish Center Reg;
UAA562L, Nissan [sahara] UAD 567U,Toyota Corona UAF 381, Nissan
–Datsun UAG816G,Toyata Corona UAA644S,Toyota Calidina UAF800U,Nissan
Datsun [Sahara] 143D ne Jeep UAF 257K ngono bagimubirako kumulyango
gwewakawe ngabakozesa kifuba.
Ayongerako nagamba nti mubendo bendo lye Masaka yomukubasajja ba NRM
abakyavuga emmotoka ngeriko langi yakyenvu wabula ekisinga omwenyamiza
nomukwasa enaku kwekubera nga bwagezak’okugipangisa tewali agikirizza
kugipangisa kusomberako ebintu byona nganabamu bwebagirabo
bagikasukir’amayinja.
Hajji Bulu asabye ba RDC ne RCC bon’abawereddwa ebifo bin’obikozesa
obulungi baleme kuvumaganya ekibina kya NRM saako nokulaba ngabakola
ekisoboka kyona okulaba
ngabakangavul’abobon’abagezako
emyaka nebisibo.
Agambye nti awandikidde pulezidenti Museveni alabe ng’amukwasizako
kubanga nekussawa yaleero nenyumba jazimba ekyamulemye okumalirizza .