Ebyobufuzi

Sipiika Atabukidde Bakansala Abe’kiboogwe: Balangidde banabwe okwekobana n’abekikugu okusula ebiteeso byabwe

Sipiika Atabukidde Bakansala Abe'kiboogwe: Balangidde banabwe okwekobana n'abekikugu okusula ebiteeso byabwe

Omukubiriza w’olukiiko lw’ eggombolola y’ ekyampisi mu district y’e mukono Richard Kaddu  akangudde ku ddoboozi lwa bakansala butakola mirimu gyabwe.nga bwegirambikiddwa mu ssemateeka afuga gavumenti ez’ ebitundu , sipiika  agamba  nti kunokuba  kulyazamanya  babalonda .

On’okuva mumbera kidiridde kansala Mather Kakayi  sentebe w’akakiiko ka genernal purpose okusoma alipota  eyawukana nebyo ebyateesebwa mu kakiiko, kansala Zaake akikirira abantu b’ebulijjo Zaake Peter yategezeza kanso ng’ ebisomeddwa bwebiyawukana nebyo ebyali biteseddwa mu kakiiko.

Ono alumiriza sentebe okwekobana n’abakozi a abekikugu ne basula ebiteeso byabwe bo nga bakansala abakirira abantu  olwo ebirowoozo byabakozi ab’ ekikugu era bano bagadde endongo

Embera yemu erabikiddeko ne mu alipota y’ akakiiko k’ ebyensimbi bwesomeddwa nga erimu ebirumira kansala Ssenkungu Frances bwatakanyiza nabibademu.

Bino bitabudde sipiika nalangira ba kansala okukozesa omutindo ogw’e kiboggwe ekiremeseza  okutusa obuvunanyizibwa bwabwe , abalonzi babatuma kubawereza kyayise okulyazamanya abalonzi.

Ono asazewo okugoba alipota ya   general purpose committe nalagira eddizibweyo mu kakiiko eteekebweteekebwe bulungi.

Sipiika wa district y’ emukono Betty Nakasi omu kubetabye mu lukiiko luno ategezeza nga bakansala bwebabulamu emisomo okubabangula kuba bangi kubano bakyali bagye nga nekyebatekeddwa okukola tebanakitegera, bwatyo asabya Nampala w’ abakozi ba gavumenti attwala district y’emukono James Nkata okwatagana n’abami ab’ amagombolola okuteekerateeekera bakansala bonna emisomo okubabangula.

Mulukiiko lwerumu lwayisiza ekiteeso okugya akaddukulu ku nnyumba y’ omwami wa kabaka ow’eggombolola mutuba esatu kyampisi , wano olukiiko luyisiza ekiteeso okuzimbira abasibe kaddukulu akagya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });