Abebyokwerinda balagidde abasirikale ba poliisi namagye naddala LDU obutaddamu kulengeza wabula okukola Ebikwekweto okukwata abanyazi bebijambiya abatandikiriza okuddamu.
Omu ku badduumizi ba LDU e Wakiso yategeezezza nti balina ebiragiro okukuba ku nyama omubbi webijambiya yenna anasangibwa nga atawanya abantu.
Kino kidiridde obunyazi bwebijambiya okuddamu e Nsangi ne Kyengera mu district ye Wakiso ne mu byalo ebitali bimu e Mukono n’e
Kampala.
Omumyuka womwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano, Luke Owesigire yategeezezza nti ku lwokusatu ekiro abazibu abebijambiya baliko abantu musanvu bebayingiridde
ku kyalo Wakimese cell, mu Kyengera Town Council ku lwe Masaka ate abalala basatu baabatemedde Nsangi era ku lwe Masaka nga bino biri mu Wakiso.
Yagambye nti abazibu baasoose kulumba amaka asatu agaliranaganye ne batema abasangiddwamu nga bwebabasaba ssente okwabadde Frank Matoovu ne mukaziwe Sarah Nalubwama nti bwebakubye enduulu mulirwana Denis Mayanja najja okubayamba ate naye ne bamwambalira. Kyokka balirwana abalala bakubidde poliisi ne defensi wekitundu essimu wabula basanze abanyazi bagenze nomunyago omwabadde essimu ne ssente entonotono.
Poliisi yalagidde abantu okusula namassimu emitwetwe ate nga balina ennamba za balirwana babwe, badifensi bebyalo , ba ssentebe ne poliisi ezibatwala nti olufuna ekyekango beekubire amassimu okulwanyisa obubbi buno.
Yagambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso nti naye ababbi bano bamubitundu tebava bunayiira. Wiiki ewedde era waliwo abebijambiya abazinze ekyalo e Namungoona zone 1 Rubaga Division ne batta omuntu omu nokunyaga amassimu ne ssente. Era poliisi etegezeza abantu okwegendereza enyo.