Mukaseera nga banabitone bali mukeetalo ku ani kuluno agenda okufuuka omukulembeze w’ekibiina ekigata abayimbi ekya Uganda Musicians Association (UMA), embiranye yeyongedde wakati w’omuyimbi Ssemanda Mansur abasinga gwebategera nga King Saha awamu ne Cinderella Sanyu oba muyite Cindy.
Bano ababiri bebewandisiza okuvuganya kuntebe enkulu eya UMA wabula okusinzira kugetufuna , galaga nga omuyimbi King Saha ebibye ssawa yona byandiyononeka singa essala tasaba nyinji.
Okusinzira ku akulira akakiiko keby’okulondesa mu UMA omwami Godffrey Jeff Okongot, yategezeza nti bazze bawulira okwemulugunya okwenjawuloo nga kwekuusa kumuyimbi King Saha olw’okubanga nti akozesa ebiragalalagala era yategezeza nti abantu abamu bandiwunzika nga tebayisemu mukusunsulwa.
Ono agamba nti tebayinza kukola nsobi kukiriza muntu alina empisa eziyinza okuswaza ekibiina kya UMA nga wano mukusunsulwa Okongot yategezeza nti abamu bayinza okwekanga nga tebayisemu.
Newankubadde nga Cindy yabaddeko kuntebe eno oluvanyuma lweyali omukulembeze wa UMA Tugume Wycliff abasinga gwebategera nga Ykee Benda okusulawo ekiwelo, King Saha afunye obuwagizi okuva mubayimbi abasinga wano mu ggwanga okubera ne tutumu okuli Bobi Wine, Sheebah, Fik Fameica, YkeeBenda, nabalala.
Okusinzira kugali munkuubo, galaga nga anawangula entebe y’obwa pulezidenti bwa UMA, wakuwebwa emotoka ezakazibwako erya ‘Mpenkoni” era nga kino kiteberezebwa okuba nga kyekifudde okulonda okw’omulundi guno okuberamu ebugumu erinji.
Okusinzira ku Okongot yategezeza nti okulonda okw’omulundi guno kwakuberawo mumwezi ogw’okuttaano gw’omwaaka guno.