Ebyobufuzi

Olutalo ku ani agenda okusikira Oulanyah ku kifo ky’e Omoro – Lwaki NUP , FDC ,ne DP bitidde okuvuganya

Olutalo ku ani agenda okusikira Oulanyah ku kifo ky'e Omoro

Enkalu zeyongedde ku kifo ekibaddemu Omungezi Jacob Oulanyah mutabani we Andrew Ojok bwavuddeyo nakakasa  nti mwetegefu okuvuganya mu kifo ekibaddemu kitaawe akutukirize emirimu omugenzi Oulanyah gyabadde atandiseewo  kyokka abalala abegwanyiza ekifo kino nebalabula abakulira eby’okulondesa mu NRM nti tebageza nebawa Ojok tikitekiti nga tebamaze kuyita mu kamyufu kubanga nabo balina obusobozi okubeera ababaka ba OMORO .

Ojok agambye nti kitaawe alese ebintu bingi byabadde  tanaba kutukirizza  omuli  ekibiina kya Oulanyah Foundatio mwabadde ayitire okusonmesa abaana abasoba mu 100  agamu ku mukubo e Omoro gakyali mu mbeera mbi nga kitaawe wafiridde abadde amaze okukola entekateeka y’okugakola kubanga  ekitteeso kye kyali kyatuuka dda mu gavumenti  nga bino byonna bibadde bilooto  bya kitaawe kati ayagala bitukilire ng’alina okubitukiriza ng’afuuse omubaka wa Omoro

Richard Todwong

Ono yasooka kulagibwa bakungubazi    mu kusabira omwoyo gw’omugenzi ku kisaawe kya Lalogi Primary School  lwebaziika omungezi Oulanyah nga yalagibwa kitaawe omuto Francis Emona eyasaba abakungubazi okuyimilira wabo ne famire y’omugenzi Oulanyah  bawagire Oj adde mu bigere bya kitaawe .

Sabaawandiisi wa NM Richard Tadwong yagambye nti bagenda kutuula nabantu bonna abagala okuvuganya ku kifo kino babogereze bave mu lw’okaano balekere mutabani wa Oulanyah  avuganye ne ba kandidenti abalala  abagenda okuva mu bibiina ebiralala era bakole n’amanyi mangi okulaba nga ekifo kino bakyeddiza kubanga by’ebimu kubitundu NRM gyelina obuwagizi obwa manyi tebagala  bibiina birala bikibatwaleko.

Andrew Ojok mutabani wa Oulanyah

Bino webigidde nga waliwo okusika omuguwa mu   bakulembeze ba NRM e Omoro nga bakulembeddwa ssentebe wa disitulikiti eno Okolle Okao nga naye yegwanyizza ekifo kino  bano bagamba nti  bagala wabeerewo akamyufufu  ku ani anakwatira NRM bbendera ku kifo ky’e Omoro  ssosi kumala gasimbawo  nga tayise mu kamyufu kubanga nabo bewulira nti basobola okufuuka omubaka wa Onmoro .

Ensonda zitegezezza nti  ebibina ebili ku ludda oluvuganya okuli NUP, DP ne FDC bikyepenye okuvaayo okulaga amanyi  ku kifo kino kubanga nti ebibina bino  bitya nti newebanaleta kandidenti wabwe ayinza obutawangula  nti NRM era yetegese  singa ekibiina kya opozisoni kiwangula akalulu kano bantu  NRM yetegese okuzesa akakodyo  keyakozesa okujuza ekifo kya  kya LC5 e Kayunga  y’ensonga lwaki  etegeka z’okuleeta kandidenti e Omoro ebibiina bya Opozisoni zigikutte kasoobo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top