Ebikujjuko by’okukuza amazaalibwa ga Gen Muhoozo Kainerugana aduumira amagye ag’okutaka ate nga ye mutabani wa pulezidenti Yoweri Museveni omukulu abamu ku Bannayuganda n’aba opozisoni bagagye emize.
Bagambye nti omusimbi n’olwetumbu olwagatereddwamu mu kiseera kino ngobwavu abantu abamu bubasuza njala gatako ebizibu ebyagya ne Covid 19 n’omuggalo birina amakulu agomunda era kirabika NRM yabaddeko obubaka bwewa abantu.
Kyokka aba opozisoni okuli Bobi Wine owa NUP, Col Besigye nabalala bategeezezza nti tebalina kye batidde kubanga eby’obufuzi kuvuganya era nabob agenda okwongera okunyweza gulawundi nti NRM ne bwenereeta Genbero Muhoozi bajja kwabika.
Bino bynna bidiridde ebikujjuko bya Gen Muhoozi ebyakutte eggwanga ekiyiifiyiifu ne bireeta n’abanene abatali bamu omwabadde n’abakulembeze b’amawanga n’abalala.
Bino byatandise na misinde ebyabadde mu Kampala gattako ekivvulu kuulamalungi ekyabadde eky’obwereere mu Lugogo Cricket Oval omwayimbidde abayimbi abamanya.
Ekivvulu kino kyasasuliddwa abateeseteesi bamazaalibwa ga Gen Muhoozi era kyakutteyo wakati mu ssanyu n’okuzina okuva mu bantu abakungaanye okuva e bule ne Bweya.
Ekivvulu okubaawo ng’emissinde egyabadde mu bitundu bya Uanda ebyenjawulo n’okula n’okunywa bigenda mu maaso era abantu abanjawulo bategeezezza nti kino babadde tebakirabangako amazaalibwa agakuzibwa kumpi eggwanga lyonna.
Ebyo bwe byawedde ate ku Ssande ne zidda okunywa ku kijjulo kyabakungu Gen Muhoozi kye yagabulidde mu State House e Ntebe era kino kyalese kyogeza abantu bangi obwama.
Ensonda mu bawagizi ba Muhoozi zaategeezezza nti kyabadde kiwedde nga taata alaze abantu ekiddako ekiseera bwekinatuuka.
Ono yagambye nti ebyobufuzi bya Uganda bitambulira kati ku ffamire nti kybanga n’abakulembeze abalala abafa oba okuvaawo ng’ababaka era ogenda okulaba nga baleese baana babwe nga ne ku Oulanyah eyakafa bwe kyakoleddwa bwe baleese mutabaniwe ow’emyaka 32 Ojok Oulanyah okukwata bendera ya NRM.