Abekitongole e ky’omusaayi ekya Nakasero Blood Bank balaajanidde bannayuganda bafeeyo nnyo okujjubira okugaba omusayi nti kuba gwetagiibwa mu bungi okusobola okutasa obulamu.
Omukugu okuva mu kitongole ekyo Moses Turyamureba asinzidde ku kanisa ya Mt Lebanon Christian Centre church esangibwa mu kibuga Mukono mu ntekateka mwebagabidde omusaayi nategeza nga bwebetaga omusaayi mu bungi nti kuba abantu abagwa mu biti eby’enjawulo omuli abalwadde ba cancer, abagwa ku bubenje, wamu nabalala nti bagwetaga nnyo nti nga n’olwekyo gulina okuwebwayo okutasa obulamu bwaabwe.
Turyamureba agamba mu kiseera kino eky’oluwumula bo ng’abakola mu kitongole ekigaba omusaayi basaga okusomozebwa kungi, bwekituuka kukufuna omusaayi kuba mungi bagugya mu masomero nga mu kiseera kino bali mu wumula ate bantu mu bitundu bakolubo okuwaayo omusaayi.
Yye akuliddemu entekateka eno era nga ye musumba wa Mt Lebanon Samuel Lwandasa naye akunze abantu okugugaba kiyambeko okumalawo ebula lyagwo mbu olusi ekiwaliriza amalwaliro okugutunda.
Abamu kubagugabye okuli Livinstone Matovu ng’ono yakulira eby’obulamu mu kanisa eno bakukulumidde abasawo okugutundanga mbu kyokka nga bo bawayo gwabwerere nebasaba ekyo kikyusibwemu okusobola okutasa obulamu bwa bannansi.
Liita ezisoba mu 64 zezikuganyiziddwa okuva mu bantu, munteekanteeka eno ebadde ey’olunnaku olumu.