Ebyentambula

Enkalu zeyongedde mu kukebera aba boda boda emitwe

Enkalu zeyongedde mu kukebera aba boda boda emitwe

Minisita omubeeezi owa Kampala Christopher Kabuye Kyofatogabye awezze  nga bwagenda okulwanagana  nabelimbise mu kulwananyisa etekateeka ya gavumenti  gyeliko okuwandiisa n’okusomesa aba  boda boda mu bitundu by’eggwanga ebenjawulo  kubanga  nti bakizudde nti waliwo abagenda nga basiga obukyaayi mu ba boda  baleme kugyenyigiramu nti  yakifera.

Bino abayogeredde Kira  bwabadde asisisnkanya  ebiwayi bya boda boda eby’enjawulo mu division 3 ezikola Kira Municipality  okuli Bweyogerere, Namugongo ne, Kira ensisinkano  ebadde ku bitebe  bya division zino nga  yetabiddwamu banna byabufuzi  nabakungu ba gavumenti.

Kyofatogabye agambye nti bakitegeddeko nti waliwo abatandise okulwanyisa etekateeka  eno nga bagiteekamu ebyobufuzi nokujogerera amafukuule nti abagirimu bagileese kubba ba boda boda  olwa  ssente emitwalo 6 ezibasabibwa ate nti n’ebintu byebabasuubiza tebiliiyo ekintu kyawakanyiza nagamba nti  tebagenda ku kiriza era  owa boda anagaana okwewandiisa teyujjusa nga ebintu bitandise okutekebwa mu nkola

Awezze nti bagenda kukwata buli muntu atandise okusiga obukayi mu ntekateeka eno kubanga agezaako kulemesa ntekateeka ya  gavumenti nalabula aba boda boda abatagenda kwewandiisa nti atabeere na satifikeeti era  nga yamala okwewandiisa n’okusomesebwa ayinza obutadda ku mulimu gwa Boda boda ntekateeka gavumenti gyeliko okulongoosa ebyentambula mu Kampala.

Bosco Buziba ssentebe wa boda boda mu Namugongo division agambye nti etekateeka y’okubawandisa bakyagiwakanya kubanga okubakebera emitwe babera nga ababayise abalalu ate ne ssente zebabasaba nnyingi mnagamba nti engeri gavumenti gyekikulembeddemu  yandibadde yebasasaulira buli kimu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });