Abasawo mu Mbale abalina amalwaaliro gobwa nnannyini batiisizza okukuba kkampuni ekola enguudo eya Dott Services LTD mu mbuga za mateeka nga babavunaana okubotola omukutu gwa kazambi bwe baali bayiikula ebinnya nga bagenda okukola oluguudo lwa North Road, ssentebe wa basawo aba malwaaliro gobwa nnannyini Dr. Wabulokho Dominic yagambye kkampuni ya Dott Services bweyali ekola okuguudo luno baatandika na kusima, kyokka bwe baali basima ne babbomola omukutu gwa kazambi oguva ku ddwaaliro ekkulu erya Mbale Regional Referral Hospital nga kati embeera evuddeko obudde okudda ku bunnaabwo ye nkuba efudemba ennaku zino nga kati kazambi akulukutira mu malwaaliro gaabwe, ate tebakomye awo nebayimiriza n`okukola nga kati ssabbiiti ziweze 3 bukya bayikuula wano tewali kigenda mu maaso.
Tubawadde ennaku 7 okuva kati ssinga ziggwaako nga tebazibye mukutu gwa kazambi gwe baayabya, tugenda kwekalakaasa okwe mirembe ate tumale tubatwaale mu mbuga za mateeka ate balina okutuliyilira kubanga abantu bangi bakoseddwa era n`omulyango oguyingira mu ddwaaliro eddene nagwo kati baaguziba oluvannyuma lwo kugusimaasima.
Omwogezi wa city ye Mbale James Kutosi yakkirizza ensobi eno eyakolebwa aba Dott Services bwe babbomola oomukutu gwa kazambi, naye yagambye yayogeddeko ne ba kkontulakita bennyini nebasuubiza embeera okugyanguya mu bwangu. Okwogerako nabakulira oluguudo luno tekyaasobose wabula abamu kubakozi abasangiddwaawo batugambye ekizibu ekilala kye balina ye gguleeda gye baali bakozesa okukuba yingini ate nga gye balina yokka, kale wadde byonna babyogera naye ekizibu kikyaali kya maanyi kubanga okuwona kwaayo yetaagisa yingini ndala.