Ebyobufuzi

Bassentebe Batabukidde Omubaka Lwaki Alemesa Okutondawo Ebibuga

Bassentebe Batabukidde Omubaka Lwaki Alemesa Okutondawo Ebibuga

Bassentebe  b’amaggombolola agakoala   konsituwense  ya  mukono  ey’amambuka    okuli  e ggombolola  ye’ Nama  ne  Kyampisi  bavudde  mumbera  nebatabukira  omubaka  w’ekitundu  kino  Abbudalah Kiwanuka  Mulima  mayuni lwakusimbira  kkuli enteekateeka  z’okusumula  ebimu  ku  bitundu   mu  maggombolola  gano  okufuka  ebibuga  ebisookerwako  okuli Tawuni bbodi ne  tawuni  kanso, Mulima  mayuni  azze  akyogera  lunye  nti  simwetegefu  kukiriza nteekateeka  eno  nategeza  nga  bwetalina  weyambira  muntu  wawansi  okugyako  okubinikibwa  emisolo  ate nga  obuwereza  butono ddala.

Mulima  mayuni  era ategezeza  nga  ekyokulabirako  ku bibuga ebirala  ebyasooka okutondebwawo bwebitubidde  mu ddubi  lyensimbi  nga  nababiwangaliramu  bakaba  twawa  nga ntulege.

Ssentebe  w’eggombolola ye  Nama  Isabirye  jonhbosco  Emma  ategezeza   ng’e  bweyatuka  edda  mu  kanso  ya  district  y’emukono  okufula  ebitundu  omuli  Mbalala ,Nmawojolo  muwala  okusumusibwa  mu kisanja  kya  2016  wabula  tamanyi  lwaki nabuli  kati  nama  ng’eggombolola  tenafuna  kibuga  kisumusibwa   era  wano  wasinzidde  nategeza  nga  kati  wakiri   eggombolola  ye’Nama  efulibwe  tawuni  kanso.

Mumbera yemu  ssentebe  we  Kyampisi yiga  Jamir  ategezeza  ng’omubaka  bwatalina  mutima  gulumirirwa  bantu  bakikirira   nategeza  nti  okutondawo  tawuni  kanso  kiyambako  okwongezebwa  kunsimbi gavumenti  zesindika  okukola  emirimu , jamir  ategezeza  nga  bwebalina  okusoomozebwa  olwobunene  bwe’ ggombolola  okusoobola  okutusa  obuwereza  ku  bantu.

Ebituntu  okuli  Kalagi ,kabembe  nawalala  mu  ggombolola  ye’ kyampisi  byebisubirwa  okusumusibwa  okufulibwa  ebibuga  ebito.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top