Kampuni ya Google erangiridde nga olulimi Oluganda bweruli olumu ku nnimi 24 ezigattiddwa ku kibanja kino nga kati kisoboka okukyuusa n’ okuzivuunula ebiwandiiko okuva mu nnimi endala nga ku zino 10 ziri ku Ssemazinga Africa.
Eyakuliddemu omulimu guno, omunoonyereza Isaac Caswell yategeezezza omukutu gwa BBC nti bagadde okugaziya empeereza yabwe mu bitundu bino era kino tebakikoze ku mutimbagano guno gwokka nemu Tekinologiya okutwalira awamu.
Omukugu Caswell agamba nti buli kimu kiyinza obutabeera kituufu kikumi ku kikumu naye abantu balina okutunuulira obuwanguzi obunene obutuukiddwako kuba eno ntandikwa nnungi.
Kino kitegeeza nti omuntu kati asobola okuteeka ekigambo kyona okuva mu nnimi ezisoba mu 100 eziri ku kibanja kino nafuna kyekitegeeza mu Luganda nga akozesa ‘Google Translate’.
Ennimi endala ezigattiddwa ku mukutu guno kuliko; olubambara olwogerwa e Mali, Ewe e Ghana ne Togo, Krio olwa Sierra Leone, Lingala olwa Congo ne Central African Republic, Oromo olwogerwa mu Ethiopia, Sepedi, Tsonga e South Africa ne Tigrinya olwa Ethiopia ne Eriteria awamu n’ennimi endala.
Ennimi za Africa ezibadde ku mukutu guno kuliko Amharic, Hausa nolwa Somali.
Okusinziira ku kunoonyereza aba Google kwebakoze kyazuuliddwa nti Oluganda lwogerwa abantu abawera obukadde 20 mu Uganda ne Rwanda.