Amawulire

Ku Lwokutaano mu Ttabamiruka w’Abakyala Ssabasajja Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda mu Ttabamiruka w’Abakyala mu Buganda ku Lwokutaano luno nga 13/ May/2022 mu lubiri e Mmengo.

Bino Kamalabyonna Charles Peter Mayiga  abitegeezezza olukung’aana lwa bannamawulire olutudde e Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.

” Ssaabasajja Kabaka yasiimye okulabikako eri Obuganda ku Lwokutaano luno mu Ttabamiruka w’Abakyala. Mu Buganda okuva edda omukyala yalina ekifo kyankizo okusinga abantu bangi. Enkizo eyo yetoolerera nnyo mu kukuuma amaka. Mu Buganda abasajja n’abavubuka abalenzi  edda babeera nga mu ntabaalo nga ba maama bebasigala mu maka okugakumaakuma n’okukuza abaana naye ebyo abantu babibuusa amaaso,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga annyonnyodde nti omulembe Omutebi gulondobayo ensonga enkulu ezisobola okuyamba omukyala okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe kuba kimanyiddwa nga bannakazadde bwebaba  tebalina buvunaanyizibwa tekisoboka kuzza Buganda ku ntikko.

Annyonnyodde nti Ttabamiruka ono aluubirira okunnyikiza emiramwa egyafuula omukazi okubeera ow’enkizo mu Buganda okuviira ddala mu mirembe egyayita.

Katikkiro Mayiga akoowodde abakyala abatanaba kwewandiisa okukikola okusobola okwetaba mu Ttabamiruka ono.

Bino webijjidde nga Minisita w’ebyobulamu n’embeera z’abantu mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yakamala okutegeeza bannamawulire nga enteekateeka zonna eza Ttabamiruka w’Abakyala bweziwedde.

Minisita Nankindu agamba nti ku mulundi guno abakyala babaleetedde abakugu ab’enjawulo omuli Simon Ssenkaayi omukugu mu by’enfuna awamu n’abalala okubayambako okwezuula awamu n’okwekulaakulanya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top