Olukiiko lwa Buganda lwayisizza ebiteeso mukaaga mu lutuula olw’okusatu olw’omwaka ogwa 29,nerusemba endagaano eyakolebwa wakati wa gavumenti ne kampuni ya Vinci Coffee Co. Ltd esazibwemu mu bwangu.
Mu lukiiko luno olubadde lukubirizibwa Sipiika Patrick Luwaga Mugumbule lwayisizza ebiteeso lweyamidde ku ndagaano eno abakiise nebakuba ebituli ku Musigansimbi ono eyaleeteddwa okulaakulanya emmwanyi kyokka nga talina ssente, nebalabula gavumenti ku ndagaano ekika kino.
Abakiise bakkaanya awatali kwekutulamu endagaano eno esazibwemu kuba terina kalungi kegenda kuleeta eri abalimi b’emmwaanyi mu Uganda ne Buganda.
Olukiiko lwasembye Katikkiro okulondoola ensonga y’okuteekawo ttabamiruka w’abalimi b’emmwanyi bonna mu Uganda,n’ekigendererwa eky’okutema empenda ez’okuyamba bannayuganda okusigala mu bulimi n’obusuubuzi bw’emmwaanyi.
Mu ngeri yeemu Olukiiko lwavumiridde abantu abatulugunya abavubi, abalunnyanja, nabalunzi b’ebyenyanja n’ekigendererwa ky’okwagala okubagoba mu nnyanja n’okubagoba mu mulimu gw’okulunda ebyenyanja nelusaba kino kibeereko ekkomo.
Olukiiko lwasembye Obwakabaka okuteekawo enkola enayamba okulambika abantu ku nsonga y’ennyimbe mu Buganda awamu n’okubabangula ku by’obusika, n’ebiteeso ebirala okusobola okutaasa obuwangwa n’ennono za Buganda.
Olukiiko lwasembye nti mu ngeri eyenjawulo luseewo amaanyi mu kugunjula n’okutendeka omwana ow’obulenzi mu Buganda.