Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ki Forum for Democratic (FDC) era eyavuganyako ku bwapulezidenti Rtd. Col Dr Kizza Besigye azzeemu okutambuza ebigere nga awakanya gavumenti obutakola kimala ku bbeeyi y’ebintu eyongera okulinnya buli ddakiika.
Besigye bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu makaage e Kasangati agambye nti akaseera katuuse bannayuganda basitukiremu bawakanye ebbeeyi y’ebintu eyeekanamye, okutulugunyizibwa awamu n’olukwe lwaPulezidenti Museveni okuleeta mutabani we Gen. Muhoozi Kainerugaba ng’omusika we ku bwapulezidenti.
Dr Col Kizza Besigye agamba nti akattu k’ebyenfuna eggwanga mweriri kivudde ku gavumenti okusaasaanyiza ssente ku bintu ebitalimu makulu.
“Tulina abakozi ba gavumenti bangi nga bonna bakola omulimu gwe gumu kati laba RDC ne CAO, amagye ge ggwanga gali Congo ezo zonna ssente zamuwi wa musolo,” Besigye bw’ annyonnyodde.
Besigye asabye bannayuganda awatali kwekutulamu balemese Pulezidenti Museveni okuleeta mutabani we Muhoozi Kainerugaba ku bwapulezidenti.
“Tulina okulwana obuyinza bukyuuke so si kuleeta musika. Tulina okuggya obukulembeze bw’eggwanga lino mu lulyo lwa Pulezidenti Museveni kuba beefuze buli kimu, tulina okutaasa eggwanga lino,” Besigye bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku Besigye, gavumenti egenda kuggyayo amaanyi gonna okulemesa obuyinza okukyuuka naye singa bannansi banaaba beteeseteese bulungi bajja kugiwangula.
Oluvannyuma Besigye afulumye mu makaage okwolekera ekibuga Kampala okwekalakaasa wabula poliisi temuganyiza nemuzza mu makaage era wetukoledde eggulire lino nga eby’okwerinda binywezeddwa okwetoloola amaka ga Besigye.