Amawulire

Justine Kissakye akutukidde mu Kereziya wakati mu Mmisa

Abakristu  b’e Kereziya ye Kabuuma eri mu kuzimbibwa mu divizoni y’e Masajja mu Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo baaguddemu ekyekango ku Ssande mu Mmisa wakati munnaabwe bwe yatondose n’afiirawo.

Justine Kisakye 34, ye yagudde eri n’afa wakati mu Kitambiro kya Mmisa eyabadde ekulembeddwaamu Fr. Vicent Kabanda.

Omu ku baabadde mu Mmisa eno yategeezezza nti babadde wakati mu Mmisa mu kiseera Faaza wateekerateekera Abakristu basobole okusembera, Kisakye eyabadde ku Ntebe ez’omu maaso yaleekanye omulundi gumu nti “Yezu” n’aggwa era okumukwatako nga mukalu wa jjo.

“Ensisi gye twafunnye mu Klezia yaffe tebangawo, munnaffe twawulidde aleekaana nti Yezu n’aggwa eri teyaze ngulu,” bwatyo omu ku Bakristu abaabaddewo bwe yagambye.

Poliisi okuva e Kibiri ne Kibuye yatuuse nga wayise eddakiika nga 30 n’esalako ekifo kyonna ne baggyawo omulambo gwa Kisakye ne bagutwala mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa.

Abatuuze b’e Kabuuma, Kisakye gy’abadde abeera bamwogeddeko ng’omukazi abadde omuntumulamu ate nga mujumbize nnyo mu buweereza bw’Eklezia eno mwe yafiiridde.

Kisakye yaziikiddwa eggulo e Mayangayanga okumpi ne Nakifuma.

Fr. Augustine Bukenya Bwannamukulu ow’e Masajja yategeezezza abakungubazi nti buli muntu asaana okwetegekera okufa ng’amanyi nti essaawa yonna agenda.

Fr. Bukenya yagambye nti Kisakye yafudde bulungi kubanga yafiiridde mu maaso ga Makama era n’amusabira Katonda amusonyiwe byonna ebyamusobako.

Kisakye abadde mufumbo ng’alina n’abaana bataano.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top